bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 11
Romans 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Kale mbuuza, Katonda yeegaana abantu be? Nedda! n'akatono. Nange kennyini ndi Muisiraeri, wa mu zzadde lya Ibulayimu, wa mu kika kya Benyamini.
2
Katonda tagaananga bantu be be yamanya edda. Oba temumanyi ebyawandiikibwa ku Eriya bwe byogera, ku ngeri gye yasaba Katonda ku Baisiraeri?
3
“Mukama, basse bannabbi bo, ne baazikiriza ebyoto byo, era nze nsigaddewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.”
4
Naye Katonda yamuddamu nti, “Nze nneekumidde abasajja kasanvu (7,000), abatafukaamiriranga Baali.”
5
Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo abaalondebwa olw'ekisa.
6
Naye bwe kibanga lwa kisa, olwo kiba nti si lwa bikolwa; kuba olwo ekisa kiba tekikyali kisa nate.
7
Kale tukole tutya? Isiraeri yalemwa okufuna kye yali anoonya, abaalondebwa baakiraba, ate abalala ne bakakanyazibwa,
8
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.”
9
Era Dawudi ayogera nti, Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gyebali;
10
Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga emigongo gyabwe emirembe gyonna.
11
Kambuuze, Baamala kwesittala ne balyoka bagwa? Nedda, nakatono. Naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, aba Isiraeri bakwatibwe obuggya.
12
Naye oba ng'okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga bw'ansi, n'okulemwa kwabwe kutegeeza bugagga eri ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekulisinga nnyo?
13
Kaakano njogera nammwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange,
14
ndyoke nkwase Bayudaaya bannange obuggya, bwentyo ndokole abamu mu bo.
15
Kuba oba ng'okuganibwa kwabwe kutegeeza kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kutegeeza ki, okuggyako obulamu okuva mu bafu?
16
Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kiba kitukuvu; era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi gaba matukuvu.
17
Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwako, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, n'osimbibwa mu kifo kyago, ogabane ku bugagga obw'omuzeyituuni;
18
teweenyumiririzanga ku matabi ago. Bw'oba weenyumiriza, jjukira nti si ggwe owanirira ekikolo, naye ekikolo kye kiwanirira ggwe.
19
Kale onooyogera nti, “Amatabi gaawogolwako nze nsobole okusimbibwako.”
20
Weewaawo; gaawogolwako lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga.
21
Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira.
22
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda, eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe, naye bw'otoobeererenga mu bwo, naawe oliwogolwako.
23
Era nabo, bwe bataaliremera mu butakkiriza bwabwe baliyungibwa ku kikolo, kubanga Katonda ayinza okubayungako nate.
24
Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa, tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
25
Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri, okutuusa ab'amawanga lwe balituuka ku kutuukirira kwonna;
26
era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Omununuzi aliva mu Sayuuni; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo.”
27
“Era eno ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28
Okusinziira mu Njiri, be balabe ba Katonda ku lwammwe; naye okusinziira mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajjaabwe.
29
Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.
30
Era nga mmwe edda bwe mwali abajeemu eri Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obujeemu bwabwe.
31
Bwe batyo nabo kaakati bajeemu, balyoke basaasirwe nga mmwe bwe mwasaasirwa.
32
Kubanga Katonda yasiba abantu bonna mu bujeemu, alyoke asaasire bonna.
33
Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika!
34
“Kubanga ani eyali ategedde ebirowoozo bya Mukama? Oba ani eyali amuwadde amagezi?”
35
“Oba ani eyali amuwadde ekirabo alyoke amuddizewo?”
36
Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna. Amiina.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16