bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 5
Romans 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe ne Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo.
2
Mu ye mwe twayita okufuna ekisa kino kye tuyimiriddemu; era tusanyuka mu kusuubira kwe tulina okw'okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
3
So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza;
4
nate okugumiikiriza kuleeta empisa ennungi; n'empisa ennungi zireeta okusuubira:
5
n'okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, mu Mwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa.
6
Bwe twali nga tukyali banafu, mu kiseera ekituufu Kristo naafiirira abatatya Katonda.
7
Kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu; oboolyawo mpozzi omuntu aguma okufiirira omuntu omulungi.
8
Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.
9
Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, okusinga ennyo alitulokola okutuggya mu busungu bwa Katonda.
10
Kuba oba nga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganyiziddwa tulirokoka olw'obulamu bwe.
11
Era si ekyo kyokka, era naye tusanyukira mu Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana okwo.
12
N'olwekyo ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu, era n'okufa ne kuyingira olw'okwonoona, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.
13
Kituufu ekibi kyaliwo mu nsi nga amateeka teganaweebwa, naye ekibi tekibalibwa, awatali mateeka.
14
Kyokka okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.
15
Naye ekirabo eky'obuwa tekifaanana kwonoona. Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, kisinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo eky'obuwa mu kisa ky'omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna mu bangi.
16
Era ekirabo eky'obuwa tekifaanana n'ekyava mu kwonoona kw'omuntu omu, kubanga omusango ogwava mu kibi ekimu kwaleeta okusingibwa omusango, naye ekirabo eky'obuwa ekiva mu kwonoona okungi kireeta okuggyibwako omusango.
17
Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obuwa eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo.
18
Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu.
19
Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.
20
Amateeka gajja, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira, ekisa ne kisinga okusukkirira.
21
Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, era n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu ne kituweesa obulamu obutaggwaawo, mu Yesu Kristo Mukama waffe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16