bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 10
Romans 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke.
2
Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.
3
Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.
4
Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka, olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza.
5
Kubanga Musa awandiika nti, omuntu akola obutuukirivu obuva mu mateeka aliba mulamu mu bwo.
6
Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti, Toyogeranga mu mutima gwo nti, “Ani alirinnya mu ggulu?” Okwo kwe kuleeta Kristo wansi;
7
newakubadde nti, “Ani alikka emagombe?” Okwo kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.
8
Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo, kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira;
9
kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.
10
Kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke okulokoka.
11
Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti, “Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.”
12
Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani; Mukama waabwe bonna ye omu, era awa obugagga eri abo bonna abamukaabirira.
13
Kubanga, buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
14
Naye balikoowoola batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
15
Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebigere byabwe nga birungi abo abaleeta ebigambo ebirungi!”
16
Naye bonna tebaagondera Njiri. Kubanga Isaaya ayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?”
17
Kale okukkiriza kuva mw'ekyo ekiwuliddwa, n'ekiwuliddwa kiva mu kubuulira Kristo.
18
Naye mbuuza, Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, baawulira Kubanga, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabwe okutuuka ku nkomerero z'ensi.”
19
Era nate mbuuza, Isiraeri tategeeranga? Musa ye yasooka okwogera nti, “Ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga,” Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
20
Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti, “Navumbulibwa abo abatannoonyanga,” Nneeraga eri abo abatambuulirizangako.
21
Naye eri Isiraeri ayogera nti, “Obudde okuziba nnagololera emikono gyange abantu abajeemu era abatawulira.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16