bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 9
Romans 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange ye mujulirwa mu Mwoyo Omutukuvu,
2
nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange.
3
Kubanga nnandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri.
4
Aba Isiraeri; abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuweebwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;
5
abalina bajjajjaabo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina.
6
Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna,
7
so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebaava babeera abaana bonna; naye, “Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.”
8
Kwe kugamba nti, abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.
9
Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti, “Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.”
10
Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe,
11
kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita,
12
n'agambibwa nti, “Omukulu aliba muddu wa muto.”
13
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo n'amwagala, naye Essawu n'amukyawa.”
14
Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Nedda, n'akatono.
15
Kubanga agamba Musa nti, “Ndisaasira gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa.”
16
Kale bwe kityo si lwa kwagala kwa muntu oba okufuba kwe, naye lwa kusaasira kwa Katonda.
17
Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti, “Kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke libuulirwenga mu nsi zonna.”
18
Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.
19
Kale onoŋŋamba nti, “Katonda kiki ekimunnenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?”
20
Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti, “Kiki ekyakumumbisa bw'oti?”
21
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole ekimu okubumba mu ekibya eky'ekitiibwa, ne mu kirala ekitali kya kitiibwa?
22
Kale kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira,
23
alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa,
24
ebibya ebyo ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga?
25
Era nga bw'ayogera mu Koseya nti, “Abataali abantu bange, ‘ndibayita abantu bange;’ Era n'oyo ataayagalwa, ndimuyita, ‘ayagaliddwa.’ ”
26
“Awo mu kifo kye baagambirwamu nti, ‘Mmwe temuli bantu bange,’ Mwe baliyitirwa, ‘abaana ba Katonda omulamu.’ ”
27
Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti, “Newakubadde Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, naye kitundu butundu kye kirirokoka;
28
kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako.”
29
Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti, “Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandibadde nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”
30
Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza;
31
naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.
32
Lwa ki? Kubanga tebaabugobereranga nga basinziira mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,
33
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olulibasuula; Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16