bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Romans 12
Romans 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
2
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu.
3
Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
4
Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu,
5
bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
6
Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, tubikozesenga bwe tutyo, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe;
7
oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe.
8
Abuulirira, anyiikirenga mu kubuulirira kwe; agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; n'oyo asaasira, asaasirenga n'essanyu.
9
Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, munywererenga ku kirungi.
10
Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa.
11
Mubeere banyiikivu si bagayaavu; nga muli basanyufu mu mwoyo; nga muweereza Mukama waffe.
12
Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba.
13
Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.
14
Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga, so temukolimanga.
15
Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
16
Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
17
Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna.
18
Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
19
Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.”
20
Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.”
21
Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16