bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 16
Genesis 16
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
1
Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali.
2
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi.
3
Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we.
4
N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge.
5
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe.
6
Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge.
7
Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli.
8
N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi.
9
Ne malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w'emikono gye.
10
Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi.
11
Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Laba, oli lubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo.
12
Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna.
13
N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, nti Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuulidde oyo andaba?
14
Oluzzi kyerwava luyitibwa Beerirakairo: laba, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15
Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri.
16
Ibulaamu yali yaakamaze emyaka kinaana mu mukaaga, Agali bwe yazaalira Ibulaamu Isimaeri.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50