bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 17
Genesis 17
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
1
Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu.
2
Nange ndiragaana endagaano yange nze naawe, era ndikwaza nnyo.
3
Ibulaamu n'avuunama amaaso ge: Katonda n'ayogera naye nti
4
Nze, laba, endagaano yange eri naawe, naawe oliba kitaawe w'amawanga amangi.
5
So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.
6
Era ndikwaza nnyo, era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe.
7
Era ndinyweza endagaano yange nze naawe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna okuba endagaano eteridiba, okuba Katonda eri ggwe n'eri ezzadde lyo eririddawo.
8
Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo eririddawo ensi gye watambulirangamu, ensi yonna eya Kanani, okugirya emirembe gyonna; era nze, naabeeranga Katonda waabwe.
9
Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna.
10
Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga.
11
Era munaakomolwanga omubiri gw'ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak'endagaano eri nze nammwe.
12
Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyomunnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe.
13
Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba.
14
N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange.
15
Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi wo, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye.
16
Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye.
17
Ibulayimu n'alyoka avuunama amaaso ge, n'aseka, n'ayogera mu mutima gwe nti Omwana alizaalirwa oyo eyaakamaze emyaka ekikumi? era ne Saala, eyaakamaze emyaka ekyenda, alizaala?
18
Ibulayimu n'agamba Katonda nti Singa Isimaeri anaabanga mulamu mu maaso go!
19
Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: nange naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo.
20
N'ebya Isimaeri, nkuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene.
21
Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja.
22
N'aleka okwogera naye, Katonda n’alinnya n'ava eri Ibulayimu.
23
Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba.
24
Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye.
25
Ne Isimaeri omwana we yali yaakamaze emyaka kkumi n'esatu, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye.
26
Ku lunaku lumu Ibulayimu n'akomolebwa ne Isimaeri omwana we.
27
N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50