bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 46
Genesis 46
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 47 →
1
Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2
Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno.
3
N'ayogera nti Nze Katonda, Katonda wa kitaawo: totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene:
4
ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go.
5
Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraerii ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula.
6
Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye:
7
batabani be n'abaana ba batabani be wamu naye, bawala be n'abawala ba batabani be, n'ezzadde lye lyonna be yatwala naye bwe yagenda mu Misiri.
8
N'amaanya g'abaana ba Isiraeri, abajja mu Misiri, Yakobo ne batabani be, ge gano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo.
9
Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni; ne Kalumi.
10
N'abaana ba Simyoni abasajja; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani.
11
Ne batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
12
Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.
13
Ne batabani ba Isakaali; Tola, ne Puva, ne Yobu, ne Simulooni.
14
Ne batabani ba Zebbulooni; Seredi, ne Eroni, ne Yaleeri.
15
Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu.
16
Ne batabani ba Gaadi: Zifiyooni, ne Kagi, Suni, ne Ezeboni, Eri, ne Alodi, ne Aleri
17
Ne batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe: ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri.
18
Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga.
19
Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo; Yusufu ne Benyamini.
20
Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira.
21
Ne batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, Eki, ne Losi, Mupimu, ne Kupimu, ne Aludi.
22
Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna.
23
Ne batabani ba Ddaani; Kusimu.
24
Ne batabani ba Nafutaali; Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25
Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu.
26
Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga;
27
ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu.
28
N'atuma Yuda okumukulembera eri Yusufu, okulaga ekkubo mu maaso ge erigenda mu Goseni; ne batuuka mu nsi y'e Goseni.
29
Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene.
30
Isiraeri n’agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu.
31
Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange:
32
era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina.
33
Awo olulituuka Falaawo bw'alibayita bw'alyogera nti Emirimu gyammwe ki?
34
Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri.
← Chapter 45
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 47 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50