bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 29
Genesis 29
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
1
Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abaana ab'ebuvanjuba.
2
N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro, era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi: kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo: n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene.
3
N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo: ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi, ne banywesa endiga, ne bazza ejjinja ku kamwa k'oluzzi, mu kifo kyalyo.
4
Yakobo n'abagamba nti Baganda bange, muva wa? Ne boogera nti Tuli ba Kalani.
5
N'abagamba nti Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli? Ne boogera nti Tumumanyi.
6
N'abagamba nti Mulamu? Ne boogera nti Mulamu: era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.
7
N'ayogera nti Laba, enjuba ekyali mu luggya; so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa: munywese endiga, mugende muziriise.
8
Ne boogera nti Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa, ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi: ne tulyoka tunywesa endiga.
9
Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga ye yazirundanga.
10
Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani mwannyina nnyina n'endiga za Labbaani mwannyina nnyina, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku kamwa k'oluzzi, n’anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.
11
Yakobo n'anywegera Laakeeri, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
12
Yakobo n'abuulira Laakeeri nga ye muganda wa kitaawe, era nga ye mwana wa Lebbeeka: n'addukana mbiro n'abuulira kitaawe.
13
Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina n'addukana okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. N'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.
14
Labbaani n'amugamba nti Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange. N'atuula naye n'amalayo omwezi gumu.
15
Labbaani n'agamba Yakobo nti Kubanga oli muganda wange kyekiva kikugwanira okumpeererezanga obwereere? mbuulira, empeera yo eneebanga ki?
16
Era Labbaani yalina abawala babiri: erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri.
17
Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge ga kusanyusa.
18
Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti Naakuweererezanga emyaka musanvu mpeebwe Laakeeri omwana wo omuto.
19
Labbaani n'ayogera nti Waakiri mmukuwe ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; beera nange.
20
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gifaanana ng'ennaku si nnyingi olw'okwagala kwe yamwagala.
21
Yakobo n'agamba Labbaani nti Mpa omukazi wange, kubanga ennaku zange zituukiridde, nnyingire gy'ali.
22
Labbaani n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga.
23
Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; n'ayingira gy'ali.
24
Labbaani n'amuwa Zirupa omuzaana we eri omwana we Leeya okuba omuzaana.
25
Awo olwatuuka enkya n'alaba nga ye Leeya: n'agamba Labbaani nti Kino kiki ky'onkoze? saakuweereza lwa Laakeeri? kale kiki ekikunnimbizza?
26
Labbaani n'ayogera nti Tebakola bwe batyo mu kifo kyaffe okuwa omuto okusooka omubereberye.
27
Mala ennaku musanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala olw'okuweereza kw'onompeerezanga nate emyaka omusanvu emirala.
28
Yakobo n'akola bw'atyo, n'amala ennaku ze musanvu: n'amuwa Laakeeri omwana we okumuwasa.
29
Labbaani n'awa Laakeeri omwana we Bira omuzaana we okuba omuzaana we.
30
Era n'ayingira n'eri Laakeeri, era n'ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n'amuweerereza nate emyaka musanvu emirala.
31
Mukama n’alaaba nga Leeya yakyibwa, n'asumula olubuto lwe naye Laakeeri yali mugumba.
32
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi n’amutuuma erinnya lye Lewubeni: kubanga yayogera nti Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.
33
N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa kyavudde ampa n'omwana ono era: n'amutuuma erinnya lye Simyoni.
34
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu: erinnya lye kyeryava liba Leevi.
35
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Omulundi guno naamutendereza Mukama: kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'aleekera awo okuzaala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50