bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 22
Genesis 22
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugainba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno.
2
N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.
3
Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako.
4
Ku lunaku olw'okusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo.
5
Ibulayimu n'agamba abawbuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi; nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli.
6
Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu.
7
Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa?
8
Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi.
9
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku Kyoto, ku nku.
10
Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'addira akambe okutta omwana we.
11
Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti Nze nzuuno.
12
N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.
13
Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we.
14
Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa.
15
Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu,
16
n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu:
17
okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe;
18
era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.
19
Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne bagolokoka ne bagenda bonna wamu e Beeruseba; Ibulayimu n'atuulanga mu Beeruseba.
20
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli;
21
Uzi, omubereberye we, ne Buzi, muganda we, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu;
22
ne Kesedi, ne Kaazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Bessweri.
23
Bessweri n'azaala Lebbeeka: abo omunaana Mirika yabazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu.
24
N'omuzaana we, erinnya lye Lewuma, era naye n'azaala Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50