bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 5
Genesis 5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 6 →
1
Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera;
2
omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu.
3
Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi:
4
eanaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
5
Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa.
6
Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi.
7
Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;
8
ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa.
9
Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani:
10
Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
11
ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka lwenda mu etaano; n'afa.
12
Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri:
13
Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
14
ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa.
15
Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi:
16
Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
17
ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa.
18
Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka;
19
Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
20
ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri; n'afa.
21
Enoka n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Mesuseera:
22
Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
23
ennaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano:
24
Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.
25
Mesuseera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n’azaala Lameka:
26
Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusanvu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulelizi n'ab'obuwala:
27
ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa.
28
Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi:
29
n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira.
30
Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:
31
ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa.
32
Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50