bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 8
Genesis 8
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 9 →
1
Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka;
2
era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa;
3
amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataano bwe zaayitawo.
4
Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati.
5
Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi: mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi entikko z'ensozi ne zirabika.
6
Awo oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky'eryato kye yakola:
7
n'atuma namuŋŋoona n'afuluma n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi.
8
N'atuma ejjiba okuva w'ali alyoke alabe ng'amazzi gaweebuuse kungulu ku nsi;
9
naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato.
10
N'ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n'atuma ejjiba okuva mu lyato;
11
ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi.
12
N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali.
13
Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde.
14
Mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu musanvu olw'omwezi, ensi n'ekalira.
15
Katonda n'agamba Nuuwa nti
16
Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n'abakazi b'abaana bo, awamu naawe.
17
Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi.
18
Nuuwa n'afuluma, n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye:
19
buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato.
20
Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.
21
Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze.
22
Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50