bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 45
Genesis 45
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
1
Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be.
2
N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira.
3
Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge.
4
Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.
5
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa.
6
Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
7
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo.
8
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri:
9
Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna: oserengete ojje gye ndi, tolwawo:
10
era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina:
11
era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwavuwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina.
12
Era, laba, amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe.
13
Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano.
14
N'agwa muganda we Benyamini mu bulago n'akaaba amaziga; Benya mini n'akaabira mu bulago bwe.
15
N'anywegera baganda be bonna, n'akaabira ku bo: oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16
N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze: ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaddu be.
17
Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani;
18
mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi.
19
Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje.
20
Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe.
21
Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo: Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo.
22
Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisatu n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.
23
Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati; endogoyi kkumi ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezeetisse eŋŋaano n'emmere n'ebyokulya kitaawe by'aliriira mu kkubo.
24
Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda: n’abagamba nti Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo.
25
Ne bayambuka ne bava mu Misiri, ne bajja mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe.
26
Ne bamugamba nti Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza.
27
Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amannyi:
28
Isiraeri n'ayogera nti Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu: ndigenda okumulaba nga sinnafa.
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50