bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 47
Genesis 47
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 46
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 48 →
1
Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni.
2
N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo.
3
Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe.
4
Ne bagamba Falaawo nti Tuzze okutuula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani: kale nno kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu nsi y'e Goseni
5
Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo:
6
ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi tuuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange.
7
Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amuteeka mu maaso ga Falaawo: Yakobo n'asabira Falaawo omukisa.
8
Falaawo n'agamba Yakobo nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwo ziri mmeka?
9
Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe.
10
Yakobo n'asabira Falaawo omukisa, n'ava mu maaso ga Falaawo.
11
Yusufu n'atuuza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira.
12
Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ekika kyonna ekya kitaawe n'emmere, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali.
13
Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala.
14
Yusufu n'akuŋŋaaaya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ng'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu nnyumba ya Falaawo.
15
Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze.
16
Yusufu n'ayogera nti Muweeyo ensolo zammwe; nange n'abaweeranga ensolo zammwe, effeeza bw'eribabula.
17
Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe Yusufu n'abawaanyisa emmere n'embalaasi n'endiga n'ente n'endogoyi: n'abaliisiza emmere omwaka ogwo ng'abawaanyisiza ensolo zaabwe zonna.
18
Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba nti Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yonna yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maaso ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe:
19
kyetunaava tufiira mu maaso go kiki, ffe n'ensi yaffe era? tugule ffe n'ensi yaffe n'emmere, naffe n'ensi yaffe tuliba baddu ba Falaawo: tuwe ensigo, tube abalamu tuleme okufa, ensi ereme okuzika.
20
Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo.
21
N'abantu n’abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala.
22
Ensi ya bakabona yokka gy’ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kyebaava balema okutunda ensi yaabwe.
23
Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, ensigo zammwe ziizino, munaasiga ensi.
24
Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga ennimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato.
25
Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo.
26
Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo.
27
Isiraeri n'atuula mu asi y'e Misiri, mu nsi y'e Goseni; ne bafunira omwo ebintu, ne baala, ne beeyongera nnyo.
28
Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu.
29
Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri:
30
naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde.
31
N'ayogera nti Ndayirira: n'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe.
← Chapter 46
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 48 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50