bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 28
Genesis 28
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
1
Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani.
2
Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko.
3
Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga;
4
era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu.
5
Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.
6
Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani;
7
era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu:
8
Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe;
9
Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.
10
Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani.
11
N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka.
12
N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go.
13
Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;
14
n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
15
Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.
16
Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi.
17
N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu.
18
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.
19
N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi.
20
Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,
21
n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange,
22
n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50