bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 49
Genesis 49
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
1
Yakobo n'ayita abaana be abasajja, n'ayogera nti Mukuŋŋaane ndyoke mbabuulire ebiribabaako mu nnaku ez'enkomerero.
2
Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe abaana ba Yakobo; Muwulire Isiraeri kitammwe.
3
Lewubeeni, ggwe oli mubereberye wange, buyinza bwange, era amaanyi gange mwe gasookera; Ekitiibwa ekisinga, n'obuyinza obusinga.
4
Omulebevu ng'amazzi tolisinga; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo: N'okigwagwawaza: yalinnya ku kiriri kyange.
5
Simyoni ne Leevi baaluganda; Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi.
6
Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa.
7
Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima: Ndibaawula mu Yakobo, Ndibasaasaanya mu Isiraeri.
8
Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga: Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo; Abaana ba kitaawo banaakutamanga mu maaso go.
9
Yuda ye mwana w'empologoma; Olinnye mwana wange, ng'ovudde ku muyiggo: Yakutama, yabwama ng'empologoma, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamubuusa?
10
Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, Newakubadde omuggo gw'oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, Okutuusa Siiro lw'alijja; N'oyo abantu gwe banaawuliranga.
11
Ng'asiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu, N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi; Yayoza ebyambalo bye n'omwenge, N'engoye ze n'omusaayi gw'ezzabbibu:
12
Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge, N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata.
13
Zebbulooni anaatuulanga ku ttale ly'ennyanja: Anaabanga omwalo ogw'amaato; N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni.
14
Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi, Egalamira awali ebisibo by'endiga:
15
N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okusitula, N'afuuka omuddu alagirwa emirimu.
16
Ddaani anaasaliranga abantu be emisango, Ye nga kye kika mu bika bya Isiraeri.
17
Ddaani anaabanga omusota mu luguudo, Embalasaasa mu kkubo, Eruma embalaasi ebinuulo, N'okugalanjuka ey'ebagadde n'agalanjuka.
18
Nindiridde obulokozi bwo, ai Mukama.
19
Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza: Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.
20
Mu Aseri emmere ye eneebanga ngimu, Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka.
21
Nafutaali ye mpeewo esumuluddwa: Ayogera ebigambo ebirungi.
22
Yusufu lye ttabi eribala ennyo. Ettabi eribala ennyo awali oluzzi; Abaana be babuna bbugwe.
23
Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo, Baamulasa, baamuyigganya:
24
Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gy'engalo ze ne giweebwa amaanyi, Eri emikono gy'Omuyinza wa Yakobo, (Omuva omusumba, ejjinja lya Isiraeri,)
25
Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva mu nnyanja egalamira wansi, N'omukisa oguva mu mabeere, n'oguva mu lubuto.
26
Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajja bange, Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero: ey'ensozi ezitaliggwaawo: Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu.
27
Benyamini gwe musege ogunyaga: Enkya anaalyanga omuyiggo, Era akawungeezi anaagabanga omunyago.
28
Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri: n'ebyo kitaabwe bye yababuulira n'abasabira omukisa; buli muntu ng'omukisa gwe bwe gwali bwe yabasabira bw'atyo omukisa.
29
N'abakuutira, n’abagamba nti ŋŋenda okutwalibwa awali abantu bange: munziikanga wamu ne bajjajja bange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
30
mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, eri mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro okuba obutaka obw'okuziikangamu:
31
eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; eyo gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya:
32
ennimiro n'empuku egirimu, abaana ba Keesi gye baabaguza.
33
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'ata obulamu, n'atwalibwa eri abantu be.
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50