bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Genesis 33
Genesis 33
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
1
Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi.
2
N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu.
3
Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we.
4
Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga.
5
N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa.
6
Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bavuunama.
7
Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bavunama.
8
N'ayogera nti Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo kiki? N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.
9
Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.
10
Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
11
Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala.
12
N'ayogera nti Tukwate ekkubo tugende, nange naakukulembera.
13
N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa.
14
Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri.
15
Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange.
16
Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'agenda e Seyiri.
17
Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi.
18
Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga.
19
N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi.
20
N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50