bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 1
Nehemiah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo bya Nehemiya, mutabani wa Hakaliya. Mu mwezi gwa Kisuleevu, mu mwaka ogw'amakumi abiri, ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, nze Nehemiya bwe nali mu kibuga ekikulu Susa,
2
Hanani, omu ku baganda bange, n'ajja n'abantu abalala okuva mu Buyudaaya. Ne mbabuuza ebifa mu Yerusaalemu, ne ku Bayudaaya bannaffe abaddayo okuva mu buwaŋŋanguse.
3
Ne baŋŋamba nti: “Abo abaddayo mu kitundu ekyo nga bava mu buwaŋŋanguse, banakuwavu nnyo, era bawulira okuswala, kubanga ebisenge bya Yerusaalemu bimenyeddwa era n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro.”
4
Bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne mmala ennaku eziwerako nga nkungubaga, era nga sirya mmere, era ne nsinza Katonda w'Eggulu.
5
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda w'Eggulu, oli mukulu era oli wa ntiisa! Okuuma endagaano yo, era oba n'okwagala okutakoma eri abo abakwagala, era abakola by'olagira.
6
Tunula era otege okutu owulire essaala yange, nze omuweereza wo, nga nkwegayirira emisana n'ekiro olw'abantu bo Abayisirayeli. Njatula nti ffe Abayisirayeli twayonoona.
7
Twakukolera ebitatuuse, tetwakwata bye walagira, wadde amateeka ge watuwa ng'ogayisa mu muweereza wo Musa.
8
Jjukira kye walagira omuweereza wo Musa nti: ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, nnaabasaasaanyizanga mu mawanga.
9
Naye bwe munaakyukanga ne mudda gye ndi, ne mukola bye mbalagira, nnaabakomyangawo okuva yonna gye munaabanga musaasaanidde mu nsi, ne mbateeka mu kifo kye nalonda okunsinzizangamu.’
10
Bano be bantu bo era abaweereza bo, be wanunuza obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.
11
Kaakano, Ayi Mukama, tega okutu owulire okwegayirira kwange, n'okw'abaweereza bo abalala abakussaamu ekitiibwa. Ompe omukisa olwaleero, omusajja ono ankwatirwe ekisa.” Mu nnaku ezo nali musenero wa kabaka.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13