bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 3
Nehemiah 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Awo Eliyasibu Ssaabakabona, wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba Omulyango gw'Endiga, ne bagutukuza, era ne baguteekamu enzigi. Ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gw'Ekikumi, n'ogwa Hananeeli.
2
Abasajja b'e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddako, ate Zakkuri mutabani wa Yimuri, n'azimba ekitundu ekiddako.
3
Batabani ba Hassenaa ne bazimba Omulyango gw'Ebyennyanja, ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu, n'ebizisiba.
4
Meremooti mutabani wa Wuriya era muzzukulu wa Hakkozi, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako. Oyo n'addirirwa Mesullamu, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Mesezabeli. Abo ne baddirirwa Zaddooki, mutabani wa Baana, okuddaabiriza.
5
Abasajja b'e Tekowa ne baddako mu kuddaabiriza, kyokka abakungu baabwe ne bagaana okukola omulimu ogwabaweebwa mukama waabwe.
6
Yoyaada mutabani wa Paseya, ne Mesullamu mutabani wa Besodeeya, ne baddaabiriza Omulyango ogw'Edda. Ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu, n'ebisiba.
7
Awo Melatiya Omugibiyoni ne Yadoni Omumeronooti, n'abasajja ab'e Gibiyoni ne Mizupa, abafugibwa omufuzi omukulu ow'emitala w'omugga, be baddako mu kuddaabiriza.
8
Wuzziyeeli mutabani wa Harukaya, omu ku baweesi ba zaabu, ye yaddako mu kuddaabiriza. Oyo n'addirirwa Ananiya omukozi w'eby'obuwoowo. Ne banyweza Yerusaalemu okutuuka ku Kisenge Ekigazi.
9
Okwo ne kuddako Refaaya, mutabani wa Huuri, omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Yerusaalemu.
10
Oyo yaddirirwa Yedaaya mutabani wa Harumafu, eyaddaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Hattusi mutabani wa Hasabuneya ye yaddako mu kuddaabiriza.
11
Malukiya mutabani wa Harimu, ne Hassubu mutabani wa Pahati Mowaabu, ne baddaabiriza ekitundu ekyaddako, n'omunaala ogw'Ebyoto.
12
Abo ne baddirirwa Sallumu mutabani wa Hallohesi omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekirala ekya Yerusaalemu. Sallumu omulimu yagukola ne bawala be.
13
Hanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango gw'Ekiwonvu. Ne baguzimba buggya, ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu n'ebizisiba. Era ne baddaabiriza ekitundu ky'ekisenge kya mikono ebikumi bitaano okutuuka ku Mulyango gw'Ebisasiro.
14
Malukiya mutabani wa Rekabu omufuzi w'e Beti Hakkeremu, n'addaabiriza Omulyango gw'Ebisasiro, n'aguzimba buggya n'aguteekamu enzigi n'ebisiba.
15
Sallumu mutabani wa Koluhoze omufuzi we Mizupa, n'addaabiriza Omulyango gw'Oluzzi. N'aguzimba buggya, n'agusereka era n'agussaamu enzigi n'ebisiba. Era n'azimba ekisenge eky'oku kidiba kya Seela ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuukira ddala ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
16
Nehemiya mutabani wa Azibuku omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Betizuuri, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuukira ddala ku masiro ga Dawudi, ne ku kidiba ekisime, ne ku nsiisira z'abasajja ab'amaanyi.
17
Abaleevi be baddirira Nehemiya okuddaabiriza: Rehumu mutabani wa Bani ye yasooka, n'addirirwa Hasabiya omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Keyila. Ono ye yaddaabiriza ku lw'ekitundu kye.
18
Baganda baabwe nga bakulemberwa Bavvayi mutabani wa Henadaadi omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekirala eky'e Keyila.
19
Ne kuddako Ezeri mutabani wa Yeswa omufuzi w'e Mizupa. Ono yaddaabiriza ekitundu ekitunudde awaterekebwa ebyokulwanyisa, okutuukira ddala ku nsonda y'ekisenge.
20
Baruku mutabani wa Zabbayi ye yaddako, n'addaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nsonda y'ekisenge okutuuka ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu Ssaabakabona.
21
Ne kuddako Meremooti mutabani wa Wuriya, era muzzukulu wa Hakkozi, eyaddaabiriza ekitundu okuva ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba eyo.
22
Bakabona, abasajja ab'omu lusenyi, be baddirira Meremooti okuddaabiriza.
23
Benyamiini ne Hassubu be baddako, ne baddaabiriza ekitundu ekiri mu maaso g'ennyumba zaabwe. Ne kuddako Azariya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya. Ono n'addaabiriza ekitundu ekiriraanye ennyumba ye.
24
Ne kuddako Binnuyi mutabani wa Henadaadi, n'addaabiriza okuva ku nnyumba ya Azariya okutuuka ekisenge we kiwetera.
25
Awo Palali mutabani wa Wuzayi n'addaabiriza ekitundu okwolekera ekisenge we kiwetera, n'omunaala gw'ennyumba ya kabaka eya kalinaabiri, okumpi n'ennyumba y'abakuumi. Ne kuddako Pedaaya mutabani wa Parosi,
26
n'abaweereza b'omu Ssinzizo abaabeeranga mu kitundu ekiyitibwa Ofeli. Ne baddaabiriza okutuuka mu kifo ekitunudde mu Mulyango gw'Amazzi mu buvanjuba, ne ku munaala omuwanvu.
27
Awo ab'e Tekowa ne baddako. Ne baddaabiriza ekitundu ekitunudde mu munaala omunene omuwanvu okutuuka ku kisenge kya Ofeli.
28
Bakabona ne baddako nga batandikira ku Mulyango gw'Embalaasi, nga buli omu addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye.
29
Bakabona baddirirwa Zaddooki mutabani wa Yimmeri. Zaddooki n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w'Omulyango gw'Ebuvanjuba, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako.
30
Oyo n'addirirwa Hananiya mutabani wa Selemiya ne Hanuni, omwana ow'omukaaga owa Zaalaafu. Ekyo kye kyali ekitundu kyabwe ekyokubiri kye baddaabiriza. Mesullamu mutabani wa Berekiya n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye.
31
Malukiya, omu ku baweesi ba zaabu, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuuka ku nnyumba y'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'ey'abasuubuzi, ezitunudde mu Mulyango gwa Mifukaadi okumpi n'omunaala ogw'omu nsonda y'ekisenge.
32
Abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi ne baddaabiriza okuva ku munaala ogw'omu nsonda okutuuka ku Mulyango gw'Endiga.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13