bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 10
Nehemiah 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Bano be bantu abaateekako emikono: Nehemiya omufuzi, mutabani wa Hakaliya, ne Zeddeekiya,
2
ne Seraya, ne Azariya, ne Yeremiya,
3
ne Pasuhuuri, ne Amariya, ne Malukiya,
4
ne Attusi, ne Sebaniya, ne Malluki,
5
ne Harimu, ne Meremooti, ne Obadiya
6
ne Daniyeli, ne Ginnetoni, ne Baruku
7
ne Mesullamu, ne Abiya, ne Miyamini,
8
ne Maaziya, ne Bilugayi ne Semaaya. Abo be bakabona.
9
Abaleevi abaateekako emikono be bano: Yeswa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi, omu ku baana ba Henadaadi, ne Kadumyeli,
10
ne baganda baabwe: Sebaniya, ne Hodiya ne Kelita, ne Pelaya, ne Hanani,
11
ne Mikka, ne Rehobu, ne Hasabiya,
12
ne Zakkuri, ne Serebiya, ne Sebaniya,
13
ne Hodiya, ne Baani, ne Beninu.
14
Abakulembeze b'abantu era abaateekako emikono be bano: Parosi, ne Pahati Mowaabu ne Elamu, ne Zattu, ne Baani,
15
ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,
16
ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini
17
ne Ateri, ne Heezeekiya, ne Azzuri,
18
ne Hodiya, ne Hasumu, ne Bezayi,
19
ne Harifu, ne Anatooti, ne Nebayi,
20
ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Heziri,
21
ne Mesezabeli, ne Zaddooki, ne Yadduwa,
22
ne Pelatiya, ne Hanani, ne Anaya,
23
ne Hoseya, ne Hananiya, ne Hassubu,
24
ne Hallohesi, ne Piluha, ne Sobeki,
25
ne Rehumu, ne Hasabuna, ne Maaseya
26
ne Ahiya, ne Hanani, ne Anani,
27
ne Malluki, ne Harimu, ne Baana.
28
Abayisirayeli abalala bonna, bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'abo bonna abeeyawula ku bantu b'omu nsi eyo ne bagoberera Amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera,
29
ne beegatta ku baganda baabwe ne ku bakungu baabwe, ne balayira nti: “Tukolimirwe singa tuligaana okugobereranga Amateeka, Katonda ge yawa ng'agayisa mu muweereza we Musa, era bwe tuligaana okukwatanga, n'okukolanga byonna ebiri mu Mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda waffe bye yateekawo.
30
Tetuufumbizenga bawala baffe mu ba mawanga malala, wadde okuwasiza batabani baffe bawala baabwe.
31
Ab'amawanga amalala bwe banaaleetanga ebyokulya oba ebintu ebirala byonna okubitunda ku Sabbaato, tetuubibagulengako ku Sabbaato, oba ku lunaku olulala lwonna olutukuvu. Era mu buli mwaka ogw'omusanvu, tetuulimenga misiri gyaffe, era tetuubanjenga bbanja na limu.
32
Twetemye okuwangayo buli mwaka ekitundu kimu ekyokusatu ekya sekeli olw'emirimu gy'Essinzizo.
33
“Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati emitukuvu n'ebiweebwayo buli lunaku eby'empeke, n'ensolo ezookebwa mu bitambiro buli lunaku, n'ebiweebwayo ebya buli Sabbaato, n'ebiweebwayo ng'omwezi gubonese, ne ku mbaga endala, n'ebintu ebirala ebitukuvu, n'ebiweebwayo okutambira olw'ebibi bya Yisirayeli. Tunaawangayo n'ebintu ebirala byonna ebyetaagibwa mu Ssinzizo.
34
“Era bakabona, n'Abaleevi, naffe abalala, tunaakubanga obululu buli mwaka, okulonda ebika ebinaaleetanga mu mpalo ekiweebwayo eky'enku mu Ssinzizo lya Katonda waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka.
35
“Twetemye okuleetanga mu Ssinzizo buli mwaka, ebirime ebisooka okukungulwa mu nnimiro zaffe, n'ebibala ebisooka okunogebwa ku miti gyonna egy'ebibala.
36
“Batabani baffe abaggulanda tunaabatwaliranga bakabona abaweereza mu Ssinzizo, ne tubawaayo eri Mukama, nga bwe kyalagirwa mu Mateeka. Era tunaawangayo eri Mukama ensolo zaffe ezisooka okuzaalibwa: ente n'embuzi n'endiga.
37
“Buli mwaka, tunaaleetanga eri bakabona abali mu Ssinzizo, omutemwa gw'emmere yaffe ey'empeke esooka okukungulwa, era n'omwenge, n'omuzigo ogw'emizayiti, n'ebibala eby'oku miti egya buli ngeri. N'Abaleevi tunaabatwaliranga ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'amakungula gaffe, kubanga Abaleevi abo, be baweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
38
Kabona, muzzukulu wa Arooni, anaabeerangawo ng'Abaleevi baweebwa ebitundu eby'ekkumi. Era Abaleevi banaaleetanga mu tterekero ly'omu Ssinzizo lya Katonda waffe ekitundu kimu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi bye bafunye.
39
Ddala Abayisirayeli n'Abaleevi banaaleetanga omutemwa gw'emmere ey'empeke, n'omwenge, n'omuzigo gw'emizayiti, mu tterekero, omukuumirwa ebintu ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, okumpi n'ekifo bakabona abali ku mulimu, n'abakuumi, n'abayimbi, gye basula. “Tetujjanga kulagajjalira Ssinzizo lya Katonda waffe.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13