bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 6
Nehemiah 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Awo Sanuballati ne Tobiya ne Gesemu Omuwarabu n'abalabe baffe abalala bonna, ne bamanya nga mmalirizza okuzimba ekisenge, era nga temuli bituli bisigaddemu, newaakubadde nga nali sinnassa nzigi mu miryango.
2
Sanuballati ne Gesemu ne bantumira nga bagamba nti: “Jjangu tusisinkane mu kimu ku byalo by'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga kye bagenderera kwe kunkolako akabi.
3
Ne mbatumira ababaka nga ŋŋamba nti: “Sisobola kujja, kubanga omulimu gwe ndiko munene. Kaakano ndekewo omulimu, guyimirire, ndyoke nzije eyo gye muli?”
4
Ne bantumira bwe batyo emirundi ena, nange nga mbaddamu bwe ntyo.
5
Awo Sanuballati n'antumira omuweereza we mu ngeri ye emu omulundi ogwokutaano ng'aleetedde mu mukono gwe ebbaluwa eteri nsibe.
6
Mu bbaluwa eyo yawandiika nti: “Gesemu ambuulidde nti waliwo oluvuuvuumo mu bantu abatwetoolodde nti ggwe n'Abayudaaya muteekateeka okujeema, kye kikuzimbisa ekisenge. Era agambye nti oyagala okuba kabaka waabwe,
7
era otaddewo n'abalanzi abanaabuulira abantu ebigambo byo mu Yerusaalemu nti: ‘Mu Buyudaaya mulimu kabaka.’ Kale kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo. N'olwekyo jjangu, tubyogereko.”
8
Ne mmutumira nti: “Byonna by'ogamba tebibeerangawo, ggwe obyeyiiyirizza ku bubwo.”
9
Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga balowooza nti tujja kuva ku mulimu guleme kukolebwa. Kyokka kaakano, ayi Katonda onnyongere amaanyi.
10
Awo ne ŋŋenda ewa Semaaya mutabani wa Delaaya era muzzukulu wa Meketabeli eyali tasobola kuva mu nnyumba ye. N'aŋŋamba nti: “Tugende twekweke mu kifo Ekitukuvu eky'omu Ssinzizo, twesibiremu kubanga bagenda kujja kukutta. Ddala ekiro banajja okukutta.”
11
Ne mmuddamu nti: “Omusajja nga nze nnyinza ntya okudduka ne nneekweka? Era nnyinza ntya okuyingira mu Ssinzizo okuwonyezaamu obulamu bwange? Sijja kukikola.”
12
Ne mmanya era ne ntegeera nga Katonda si ye yatuma Semaaya okwogera ebyo, wabula nga yeeyogeza eby'obulanzi ebyo, kubanga Tobiya ne Sanuballati be baali bamuguliridde.
13
Baamugulirira antiisetiise nkole bwe ntyo ngwe mu kibi, balyoke banjogereko obubi, banswazeswaze.
14
Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanuballati kye bakoze. Era jjukira n'omulanzi omukazi Nowadiya n'abalanzi abalala abagezezzaako okuntiisa.
15
Awo ne tumaliriza okuzimba ekisenge ku lunaku olw'amakumi abiri mw'ettaano mu mwezi ogwa Eluuli. Omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.
16
Abalabe baffe bonna bwe baawulira, n'ab'amawanga gonna agatwetoolodde bwe baalaba ebyo, ne baggweeramu ddala amaanyi, kubanga baamanya ng'omulimu ogwo gwakolebwa, nga Katonda waffe ye atubedde.
17
Mu biseera ebyo abakungu b'omu Buyudaaya baaweerezanga Tobiya ebbaluwa nnyingi era ne Tobiya ng'abaddamu.
18
Mu Buyudaaya mwalimu abantu bangi abaali ku ludda lwe, kubanga Sekaniya mutabani wa Ara ye yali kitaawe wa mukazi we. Ate ne mutabani we Yehohanani yali awasizza muwala wa Mesullamu, mutabani wa Berekiya.
19
Abantu baayogereranga we ndi ebirungi Tobiya by'akola, ate ne bamubuuliranga bye njogedde. Tobiya n'ampandiikiranga ebbaluwa ezintiisatiisa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13