bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 8
Nehemiah 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Awo Abayisirayeli bonna ng'omuntu omu, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu, mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango gw'Amazzi. Ezera omunnyonnyozi w'amateeka ne bamugamba aleete Ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa.
2
Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, Ezera kabona n'aleeta ekitabo ekyo, mu kifo Abayisirayeli bonna we bakuŋŋaanidde, abasajja n'abakazi n'abaana bonna abasobola okutegeera.
3
N'asoma ebikirimu, ng'atunudde mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango ogw'Amazzi. Yakibasomera okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bonna bateze amatu okuwulira eby'omu kitabo ekyo eky'Amateeka.
4
Awo Ezera omunnyonnyozi w'amateeka n'ayimirira ku kituuti eky'embaawo, ekyakolebwa olw'omulimu ogwo. Era okumpi naye ne wayimirirawo Mattitiya, ne Sema, ne Anaya, ne Wuriya, ne Hilukiya, ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo, ne Pedaaya, ne Misayeli, ne Malukiya, ne Hasumu, ne Hasubaddana, ne Zekariya, ne Mesullamu, ku mukono gwe ogwa kkono.
5
Awo Ezera n'ayanjuluza ekitabo ng'abantu bonna bamulaba bulungi, kubanga yali ayimiridde ku kituuti. Bwe yayanjuluza ekitabo, bonna ne bayimirira.
6
Ezera n'agamba nti: “Mukama Katonda atenderezebwe, kubanga mukulu!” Awo abantu bonna ne baddamu nti: “Weewaawo, weewaawo,” nga bawanika emikono gyabwe. Ne bavuunama ne basinza Mukama, ng'emitwe gyabwe gikoona ku ttaka.
7
Awo abantu ne bayimirira mu bifo byabwe, Yeswa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akubu, ne Sabbetaayi, ne Hodiya, ne Maaseya, ne Kelita, ne Azariya, ne Yozabadi, ne Hanani, ne Pelaya, n'Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka.
8
Ne basoma mu ddoboozi eriwulikika, ebiri mu kitabo ky'Amateeka ga Katonda, nga bannyonnyola amakulu, abantu basobole okutegeera ebisomeddwa.
9
Awo abantu bwe baawulira Amateeka bye galagira okukola, ne bakaaba amaziga. Awo Nehemiya Omufuzi, ne Ezera kabona, era omunnyonnyozi w'Amateeka, n'Abaleevi abaayigirizanga abantu Amateeka, ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe. N'olwekyo muleme kunakuwala, wadde okukaaba amaziga.
10
Kaakano muddeyo ewammwe, mulye ebyassava, munywe omwenge oguwooma, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe. Kale temunakuwala, kubanga essanyu Mukama ly'abawa, ge maanyi gammwe.”
11
Abaleevi ne bagenda nga bawooyawooya abantu, nga bagamba nti: “Mukkakkane, kubanga olunaku luno lutukuvu, temunakuwala.”
12
Awo abantu ne baddayo ewaabwe, ne balya ne banywa nga basanyuka, era ne bagabira ne ku bannaabwe, kubanga baali bategedde ebyali bibasomeddwa.
13
Ku lunaku olwaddirira, abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu bonna ne bajja, wamu ne bakabona n'Abaleevi, ne bakuŋŋaanira ewa Ezera omunnyonnyozi w'Amateeka okuyiga eby'omu Mateeka.
14
Mu Mateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa, ne basanga nti Abayisirayeli banaasulanga mu nsiisira mu biseera eby'embaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu.
15
Banaamanyisanga era banaalangiriranga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemu nti: “Mwambuke ku busozi, muleete amatabi g'emizayiti emisimbe n'ag'egy'omu nsiko, n'ag'emiti egy'ebisaka, n'ag'enkindu, n'ag'emiti emiziyivu, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.”
16
Bwe batyo abantu ne bagenda, ne baleeta amatabi ago, ne beezimbira ensiisira, buli omu ku kasolya k'ennyumba ye akabeebeetevu, ne mu luggya lwe, ne mu luggya lw'Essinzizo, ne mu kibangirizi eky'oku Mulyango ogw'Amazzi, n'eky'oku Mulyango gwa Efurayimu.
17
Abantu bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne bazimba ensiisira ne bazisulamu. Abayisirayeli ne basanyuka nnyo, kubanga okuva mu biseera bya Yeswa mutabani wa Nuuni, okutuuka ku lunaku olwo, baali tebakirabangako.
18
Buli lunaku, okuva ku lunaku olusooka olw'embaga, okutuuka ku lusembayo, Ezera n'abasomeranga eby'omu kitabo ky'Amateeka ga Katonda. Embaga n'emala ennaku musanvu, ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olutukuvu, ng'ekiragiro bwe kigamba.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13