bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 5
Nehemiah 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Awo ne wabaawo abasajja ne bakazi baabwe abeemulugunyiza Bayudaaya bannaabwe.
2
Abamu ne bagamba nti: “Ffe ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi. Tufune eŋŋaano, tulyenga tube balamu.”
3
Abalala ne bagamba nti: “Olw'enjala, tusingayo ebibanja byaffe n'ennimiro zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe okufuna eŋŋaano.”
4
N'abalala ne bagamba nti: “Twewola ensimbi okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez'emizabbibu.
5
Tuli ba musaayi gumu ne Bayudaaya bannaffe abo, abaana baffe bali ng'abaana baabwe. Kyokka batabani baffe ne bawala baffe tubawaayo okuba abaddu n'abazaana. Era abamu ku bawala baffe bamaze okuweebwayo mu buddu. Tetukyesobola, kubanga ebibanja byaffe n'ennimiro zaffe ez'emizabbibu birina balala.”
6
Bwe nawulira ebyo bye bagamba nga beemulugunya, ne nsunguwala nnyo.
7
Awo ne nneebuuza mu mutima gwange eky'okukola. Ne nnyombesa abakulembeze n'abakungu b'abantu, ne mbagamba nti: “Muliika baganda bammwe amagoba!” Awo ne nkuba olukuŋŋaana lunene okubavunaana.
8
Ne mbagamba nti: “Tukoze kye tusobola okununula Bayudaaya bannaffe abaatundibwa mu b'amawanga amalala. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule?” Abakulembeze ne basirika busirisi, ne batabaako kye boogera.
9
Awo ne ŋŋamba nti: “Kye mukola si kirungi. Musaanidde okutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa balabe baffe ab'amawanga amalala.
10
Nange mbadde mpola abantu ssente n'eŋŋaano, era nga ne baganda bange n'abaweereza bange nabo bakikola. Kati mbeegayiridde, tubasonyiwe amagoba ago.
11
Mbeegayiridde mubaddize olwaleero ebibanja byabwe n'ennimiro zaabwe ez'emizabbibu, n'ez'emizayiti era n'amayumba gaabwe. Mubasonyiwe amabanja gonna ge mubabanja: aga ssente, n'ag'eŋŋaano, ag'omwenge ogw'emizabbibu n'ag'omuzigo ogw'emizayiti.”
12
Awo abakulembeze ne baddamu nti: “Tujja kukola nga bw'otugambye. Tujja kubaddiza ebintu byabwe byonna, era tubasonyiwe n'amabanja gonna ge tubabanja.” Ne mpita bakabona, ne ndayiza abakulembeze n'abakungu okukola nga bwe basuubizza.
13
Awo ne nkunkumula ekiwuzi kye nneesiba mu kiwato, ne ŋŋamba nti: “Bw'ati Katonda bw'alikunkumula omuntu atakuuma ky'asuubizza, n'amuggya mu nnyumba ye, ne ku mulimu gwe. Omuntu oyo bw'atyo bw'aba akunkumulwa mu ebyo, aggyirwemu ddala.” Ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama. Abantu ne batuukiriza kye baasuubiza.
14
Mu myaka gyonna ekkumi n'ebiri gye namala nga nfuga Buyudaaya, okuva mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Arutazeruzeesi ye kabaka, okutuuka mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu ebiri, nze wadde baganda bange, tewali yalya ku mmere eyaalibadde eweebwa omufuzi.
15
Abafuzi abansooka, baatulugunyanga abantu nga babaggyako emmere n'omwenge gw'emizabbibu n'ensimbi amakumi ana eza ffeeza. Era n'abaweereza baabwe, nabo baatulugunyanga abantu. Naye nze si bwe nakolanga, kubanga nali nzisaamu Katonda ekitiibwa.
16
Nze nanyiikiriranga kukola mulimu gwa kuzimba kisenge kino, ne tuteegulira ttaka. N'abaweereza bange bonna ne beemalira mu kukola mulimu.
17
Ku mmeeza yange naliisanga abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya, n'abakulembeze, wamu n'abantu abalala abajja gye tuli nga bava mu mawanga agatwetoolodde.
18
Buli lunaku banteekerateekeranga ente emu, n'endiga mukaaga ensava, n'enkoko era buli nnaku kkumi, omwenge mungi ogwa buli ngeri. Wadde ng'ebyo byali bwe bityo, kyokka namanya ebizibu ebinene abantu bye baalina, ne sibasaliranga mmere gye banditeekeddwa okuwa omufuzi.
19
Ayi Katonda wange, jjukira byonna bye nkoledde abantu bano, onsasulemu ebirungi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13