bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 11
Nehemiah 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Mu biseera ebyo, abakulembeze b'abantu mu ggwanga, ne babeeranga mu Yerusaalemu. Abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi, okubeeranga mu Yerusaalemu, ekibuga ekitukuvu, n'abalala omwenda ku buli kkumi, okubeeranga mu bibuga ebirala.
2
Era abantu ne basiima nnyo abasajja abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemu.
3
Kyokka Abayisirayeli abalala ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi b'omu Ssinzizo, n'abazzukulu b'abaddu ba Solomooni, babeeranga mu bibanja byabwe mu bibuga ebirala ebya Buyudaaya. Bano be batuuze abakulu mu kitundu kya Buyudaaya abaabeeranga mu Yerusaalemu:
4
mwalimu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n'abamu ku bazzukulu ba Benyamiini. Mu bazzukulu ba Yuda, mwalimu Ataya mutabani wa Wuzziya era muzzukulu wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Sefatiya, Sefatiya mutabani wa Mahalaleeli, asibuka mu Pereezi, mutabani wa Yuda.
5
Era mwalimu Maaseya mutabani wa Baruku, Baruku mutabani wa Koluhoze, Koluhoze mutabani wa Hazaaya, Hazaaya mutabani wa Adaaya, Adaaya mutabani wa Yoyaribu, Yoyaribu mutabani wa Zekariya asibuka mu Seela, mutabani wa Yuda.
6
Bazzukulu ba Pereezi bonna abaabeeranga mu Yerusaalemu, baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana, abasajja abazira.
7
Ate bazzukulu ba Benyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, Mesullamu mutabani wa Yowedi, Yowedi mutabani wa Pedaaya, Pedaaya mutabani wa Kolaya, Kolaya mutabani wa Maaseya, Maaseya mutabani wa Yitiyeeli, Yitiyeeli mutabani wa Yesaaya.
8
Baganda ba Sallu be bano: Gabbayi ne Sallayi. Ababenyamiini bonna awamu baali lwenda mu abiri mu munaana mu Yerusaalemu.
9
Yoweeli mutabani wa Zikuri ye yali omukulembeze waabwe, ne Yuda mutabani wa Hassenuwa, ye yali omumyuka w'omukulu w'ekibuga.
10
Ku bakabona, kwaliko Yedaaya mutabani wa Yoyaribu, ne Yakini,
11
ne Seraya mutabani wa Hilukiya, Hilukiya mutabani wa Mesullamu, Mesullamu mutabani wa Zaddooki, Zaddooki mutabani wa Merayooti, Merayooti mutabani wa Ahituubu Ssaabakabona omukulu w'Essinzizo.
12
Abo ne baganda baabwe bonna awamu abaaweerezanga mu Ssinzizo, baali lunaana mu abiri mu babiri. Okwo kw'ossa ne Adaaya mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Pelaliya, Pelaliya mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Pasuhuuri, Pasuhuuri mutabani wa Malukiya.
13
Bonna awamu, Adaaya ne baganda be baali ebikumi bibiri mu ana mu babiri, abaakuliranga ennyumba za bajjajjaabwe. N'omulala ye Amasusayi mutabani wa Azareeli, Azareeli mutabani wa Ahuzayi, Ahuzayi mutabani wa Mesillemoti, Mesillemoti mutabani wa Yimmeri.
14
Bano awamu ne baganda baabwe, baali kikumi mu abiri mu munaana, abasajja ab'amaanyi era abazira. Omukulembeze waabwe yali Zabudiyeeli, mutabani wa Haggedoliimu.
15
Mu Baleevi, mwalimu Semaaya mutabani wa Hassubu, Hassubu mutabani wa Azurikaamu, Azurikaamu mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Bunni.
16
Okwo kw'ogatta Sabbetaayi ne Yozabadi abamu ku Baleevi abakulu abaalabiriranga emirimu gy'ebweru egy'Essinzizo.
17
Ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zabudi, Zabudi mutabani wa Asafu eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya eyamyukanga Mattaniya, ne Abuda mutabani wa Sammuwa, Sammuwa mutabani wa Gaalaali, Gaalaali mutabani wa Yedutuuni.
18
Abaleevi bonna mu kibuga ekitukuvu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana.
19
Abaggazi be bano: Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango, baali kikumi mu nsanvu mu babiri.
20
Abayisirayeli abalala ne bakabona n'Abaleevi, baabeeranga mu bibuga ebirala byonna ebya Buyudaaya, buli omu mu kibanja kye.
21
Naye abaweereza b'omu Ssinzizo baabeeranga mu Yerusaalemu, mu kitundu kye bayita Ofeli, era baalabirirwanga Ziha ne Gisupa.
22
Eyalabiriranga Abaleevi mu Yerusaalemu yali Wuzzi, mutabani wa Baani, Baani mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Mattaniya, Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka asibuka mu nnyumba ya Asafu. Ab'ennyumba ya Asafu be baali abayimbi mu Ssinzizo.
23
Era kabaka yali ataddewo ekiragiro era n'enkola abayimbi abo bye banaagobereranga buli lunaku.
24
Petahiya mutabani wa Mesezabeli ow'omu nnyumba ya Zeera mu kika kya Yuda, ye yakiikiriranga Abayisirayeli ewa kabaka w'e Perusiya.
25
Abantu abamu baabeeranga mu bibuga ne mu byalo ebiri okumpi n'ennimiro zaabwe. Ab'omu kika kya Yuda baabeeranga mu bibuga: Kiriyati-Aruba, ne Diboni, ne Yekabuzeeli, ne mu byalo ebibyetoolodde.
26
Era baabeeranga mu bibuga Yeswa, ne Molada, ne Betipeleti,
27
ne mu Hazarusuwali, ne Beruseba, ne mu byalo ebikyetoolodde.
28
Baabeeranga mu bibuga Zikulagi ne mu Mekona, ne mu byalo byakyo,
29
ne mu Enurimmoni, ne mu Zora, ne mu Yarumuti,
30
ne mu Zanowa, ne mu Adullamu, ne mu byalo ebibiriraanye. Baabeeranga mu Lakisi n'ennimiro zaakyo, ne mu Azeka n'ebyalo byakyo. Bwe batyo baabeeranga mu kitundu okuva e Beruseba okutuuka mu kiwonvu ky'e Hinnomu.
31
Ab'omu Kika kya Benyamiini baabeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo okutuuka e Mikumasi ne Ayiya, ne Beteli n'ebyalo byakyo,
32
ne mu Anatooti ne Nobu, ne Ananiya,
33
ne Hazori, ne Raama, ne Gittayiimu,
34
ne Hadidi, ne Zeboyiimu, ne Neballati,
35
ne Loodi, ne Ono, ne mu kiwonvu ky'abakola emirimu egy'emikono.
36
Ebibinja by'Abaleevi ebimu byabeeranga mu kitundu kya Yuda, n'ebirala mu kitundu kya Benyamiini.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13