bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 13
Nehemiah 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Ku lunaku olwo, ne basomera abantu mu kitabo kya Musa. Ne basanga nga kyawandiikibwa nti: “Tewali Mwammoni wadde Omumowaabu akkirizibwa kwetaba mu lukuŋŋaana lwa bantu ba Katonda,
2
kubanga Abayisirayeli bwe baali bava e Misiri, Abammoni n'Abamowaabu, tebaabawa mmere, wadde amazzi. Kye baakola kwe kugulirira Balamu abakolimire. Naye Katonda waffe, ekikolimo n'akifuula omukisa.”
3
Abantu bwe baawulira Etteeka eryo, ne baggya mu Bayisirayeli abo bonna ab'amawanga amalala.
4
Ebyo nga tebinnabaawo, kabona Eliyasibu, eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge by'omu Ssinzizo lya Katonda waffe, yalina enkolagana emugatta ne Tobiya.
5
N'ategekera Tobiya oyo ekisenge ekinene ekyakuumirwangamu ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'obubaane, n'ebintu ebyakozesebwanga mu Ssinzizo, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'emmere ey'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti, ebyali biteekwa okuweebwa Abaleevi, n'abayimbi, n'abaggazi era n'ebyo ebyakuŋŋaanyizibwanga nga bya bakabona.
6
Ekyo okubaawo, nali siri mu Yerusaalemu, kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogw'obufuzi bwa kabaka Arutazeruzeesi ow'e Babilooni, nali nzizeeyo gy'ali okweyanjula. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemu.
7
Bwe natuuka mu Yerusaalemu, ne ntegeera ekibi Eliyasibu kye yakola, bwe yategekera Tobiya ekisenge mu Ssinzizo.
8
Ekyo kyannakuwaza nnyo, kyennava nzigya ebintu bya Tobiya byonna mu kisenge, ne mbikasuka ebweru.
9
Awo ne ndagira, ne balongoosa ebisenge, ne ndyoka nzizaayo ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo, eby'emmere ey'empeke era n'obubaane.
10
Era ne ntegeera ng'Abaleevi, n'abayimbi baali tebaweereddwa migabo gyabwe, era nga bonna bazzeeyo mu maka gaabwe mu byalo.
11
Ne nvunaana abakulu olw'obutafaayo ku Ssinzizo. Bwe ntyo ne nkomyawo Abaleevi, n'abayimbi, ne mbazza mu bifo byabwe.
12
Olwo abantu b'omu Buyudaaya ne baddamu okuleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti mu mawanika.
13
Era ne nnonda Selemiya kabona, ne Zaddooki omunnyonnyozi w'Amateeka, ne Pedaaya Omuleevi, okuba abawanika, nga bayambibwako Hanani mutabani wa Zakkuri era muzzukulu wa Mattaniya. Bano baalowoozebwa okuba abeesigwa, era omulimu gwabwe gwali gwa kuwanga bakozi bannaabwe omugabo gwabwe.
14
Onzijukiranga olwa kino, ayi Katonda wange, era teweerabiranga bikolwa byange ebirungi, bye nakolera Essinzizo lyo, n'olw'emirimu egikolerwamu okukuweereza.
15
Awo mu biseera ebyo, ne ndaba abantu b'omu Buyudaaya nga basogola omubisi gw'emizabbibu ku lunaku lwa Sabbaato. Abalala baali batikka ku ndogoyi zaabwe ebinywa by'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'emizabbibu, n'emizayiti, n'emigugu egya buli ngeri, nga babireeta mu Yerusaalemu. Nabalabula obutatunda kintu na kimu ku lunaku lwa Sabbaato.
16
Abasajja b'omu Tiiro, abaabeeranga mu Yerusaalemu, baaleetanga ebyennyanja n'ebintu ebirala, ne babiguza ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ku lunaku lwa Sabbaato.
17
Awo ne nvunaana abakulembeze mu Buyudaaya, ne mbagamba nti: “Kiki ekibakozesa ekibi kino okwonoona olunaku lwa Sabbaato?
18
Bajjajjammwe si bwe baakola bwe batyo? Era Katonda si kwe yava okutubonereza, era n'azikiriza ekibuga kino? Kaakati laba mwongera okuleetera Katonda okusunguwalira Yisirayeli, nga mwonoona olunaku lwa Sabbaato.”
19
Awo ne ndagira emiryango gyonna egya Yerusaalemu giggalwengawo obudde oluwungeera, enkeera nga ye Sabbaato. Ne mbalagira obutagiggula okutuusa nga Sabbaato eweddeko. Era ne nteeka abamu ku baweereza bange ku miryango egyo bagikuume, obutakkiriza kuyingiza kintu na kimu mu kibuga ku Sabbaato.
20
Olwo abasuubuzi n'abatunda ebintu ebya buli kika ne basula ebweru wa Yerusaalemu omulundi gumu oba ebiri.
21
Naye ne mbalabula, ne mbagamba nti: “Lwaki musula ebweru w'ekibuga? Bwe munaddamu okusulayo omulundi omulala, nja kubakwata.” Okuva ku olwo tebaakomawo ku lwa Sabbaato.
22
Awo ne ndagira Abaleevi beetukuze, era bajje bakuume emiryango, okukakasa nti Sabbaato ekuumibwa nga ntukuvu. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'olwa kino, era onsaasire olw'ekisa kyo ekingi.
23
Awo mu biseera ebyo, era ne ndaba abasajja Abayudaaya bangi, abaali bawasizza abakazi Abasudoodi n'Abammoni, n'Abamowaabu.
24
Kimu kyakubiri eky'abaana baabwe baali boogera lulimi Olusudoodi oba olulimi olw'abantu ab'eggwanga eddala, kyokka nga tebayinza kwogera lulimi Luyudaaya.
25
Ne mbavunaana era ne mbakolimira. Abamu ne mbakuba era ne mbakuunyuula enviiri. Awo ne mbalayiza Katonda nti: “Temukkirizenga bawala bammwe kufumbirwa batabani ba bagwira wadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe, era nammwe temuubawasenga.”
26
Ne mbagamba nti: “Temumanyi nga Solomooni kabaka wa Yisirayeli abakazi ng'abo be baamuleetera okwonoona? Solomooni yali mututumufu okusinga bakabaka bonna ab'amawanga amalala, era nga yayagalwa nnyo Katonda we, era Katonda yamufuula Kabaka wa Yisirayeli yonna. Kyokka abakazi ab'amawanga amalala baamukozesa ekibi.
27
Kale tunaawuliriza mmwe, ne tukola ekibi ekyenkana awo, ne tulyamu Katonda waffe olukwe, nga tuwasa abakazi ab'amawanga amalala?”
28
Omu ku batabani ba Yoyaada mutabani wa Eliyasibu Ssaabakabona, yali awasizza muwala wa Sanuballati Omuhoroni, kyennava mmugoba we ndi.
29
Ayi Katonda wange, abo bajjukire, kubanga boonoonye obwakabona, n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi.
30
Awo ne ntukuza abantu okubaggyako byonna eby'ab'amawanga amalala. Bakabona n'Abaleevi ne mbateekerawo ebiragiro eby'okugoberera, nga biraga emirimu gyabwe buli omu;
31
era ne nkola entegeka ey'enku ezeeyambisibwa okwokya ebiweebwayo, n'okuzireetanga mu budde obutuufu, era n'abantu okuleeta ebiweebwayo byabwe, eby'ebibala ebisooka okukungulwa. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'ompa ebirungi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13