bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 4
Nehemiah 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Naye Sanuballati bwe yawulira nti tuzimba ekisenge, n'asunguwala nnyo, n'abaako ekiruyi kingi era n'akudaalira Abayudaaya.
2
Awo n'ayogerera mu maaso ga baganda be n'ab'eggye lya Samariya nti: “Abayudaaya abo abateesobola bakola ki? Baneezimbirawo ekigo? Banaawaayo ebitambiro? Omulimu banaagumala mu lunaku lumu? Amayinja agoonooneddwa omuliro, ge baggya mu ntuumu z'ebisasiro, banaasobola okugafuula amalamu?”
3
Tobiya Omwammoni eyamuli ku lusegere n'agamba nti: “Ekyo ekisenge kyabwe eky'amayinja kye bazimba, n'ekibe bwe kikiyimirirako, kikisuula wansi!”
4
Ne neegayirira nti: “Ayi Katonda waffe, wulira bwe batunyooma! Kale nno kkiriza ebivumo byabwe bibaddire, banyagibweko ebintu byabwe, era batwalibwe mu nsi endala nga basibe.
5
Tobasonyiwa kwonoona kwabwe era teweerabira kibi kyabwe, kubanga bakusunguwalizza mu maaso g'abazimbi.”
6
Tweyongera okuzimba ekisenge, ne tukyetoolooza wonna, ate okugenda waggulu ne tukituusa mu makkati mu kiseera kitono, kubanga abantu baali bakola baagala.
7
Kyokka Sanuballati, ne Tobiya, n'Abawarabu, n'Abammoni, n'Abasudoodi bwe baawulira nti omulimu gw'okuzimba ekisenge kya Yerusaalemu gugenda mu maaso era nga n'ebituli bitandise okuzibibwa, ne basunguwala nnyo,
8
era ne bakkaanya bonna wamu okulumba ekibuga Yerusaalemu okukirwanyisa n'okukitabangula,
9
naye ne tusaba Katonda waffe era ne tussaawo abakuumi okuziyiza abalabe abo emisana n'ekiro.
10
Awo abantu b'omu Buyudaaya ne batandika okugamba nti: “Abasitula obuzito amaanyi gabakendedde, ebisasiro bikyetuumye! Kale tetukyayinza kuzimba kisenge kati!”
11
Era abalabe baffe baalowooza nti tetujja kumanya kye bateesezza, wadde okubalaba nga bajja, okutuusa nga batuguddeko ne batutta, n'omulimu gw'okuzimba ne gukoma.
12
Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, bwe bajja, ne batubuulira emirundi n'emirundi nti: “Bajja kuva mu bifo byonna gye babeera, bajje batulumbe”
13
Kyennava nteeka abantu emabega w'ekisenge buli awaali watannaggwa, nga batereezeddwa mu bika byabwe, era nga balina ebitala n'amafumu n'emitego gy'obusaale.
14
Ne ndaba abantu nga beeraliikiridde. Kyennava ŋŋamba abakulembeze baabwe n'abakungu, n'abantu bonna nti: “Muleme kutya balabe baffe. Mujjukire nti Mukama mukulu, era wa ntiisa! Mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe ne bawala bammwe, ne bakazi bammwe, era n'ennyumba zammwe.”
15
Abalabe baffe ne bamanya ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda alemesezza enteekateeka zaabwe. Awo ffenna ne tulyoka tudda ku mulimu gw'okuzimba ekisenge.
16
Okuva olwo abantu bange, kimu kyakubiri, be baazimbanga ekisenge, ate kimu kyakubiri, ne bambalanga ebyambalo eby'ekyuma, ne bakwata amafumu n'engabo, n'emitego gy'obusaale. Abakulembeze ne bawagira abantu ba Buyudaaya bonna.
17
Abo abaazimbanga ekisenge era n'abo abeetikkanga eby'okuzimbisa, baakozesanga omukono gumu, ate omulala nga gukutte ekyokulwanyisa.
18
Era buli muzimbi yazimbanga yeesibye ekitala mu kiwato. Ate omusajja eyafuuwanga eŋŋombe, yambeeranga ku lusegere.
19
Awo ne ŋŋamba abakungu n'abakulembeze n'abalala nti: “Omulimu munene era mugazi, naffe twesudde amabanga manene okuva ku buli muntu, ng'omu ali wala ne munne.
20
Kale bwe muwuliranga eŋŋombe wonna gye muli, mwanguwanga okujja gye ndi. Katonda waffe ajja kutulwanirira.”
21
Bwe tutyo ne tukolanga omulimu, ng'abasajja bange, kimu kyakubiri bakutte amafumu okuva ku makya okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga ekiro.
22
Mu kiseera ekyo, era ne ŋŋamba abantu nti: “Buli muntu wamu n'omuweereza we, asigale mu Yerusaalemu, batukuume ekiro, era bakole omulimu emisana.”
23
Awo nze ne baganda bange, n'abaweereza bange, n'abasajja abakuumi abaabeeranga nange, tetwayambulangamu byambalo byaffe, buli muntu yagendanga akutte ekyokulwanyisa kye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13