bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 12
Nehemiah 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Luno lwe lukalala lwa bakabona n'Abaleevi abaava mu buwaŋŋanguse, nga bali ne Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa, ne Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,
2
ne Amariya, ne Malluki, ne Hattusi,
3
ne Sekaniya, ne Rehumu, ne Meremooti,
4
ne Yiddo, ne Ginnetoyi, ne Abiya
5
ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biluga,
6
ne Semaaya, ne Yoyaribu, ne Yedaaya,
7
ne Sallu, ne Amoki, ne Hilukiya ne Yedaaya. Bano be baali bakabona abakulu abaakulemberanga bannaabwe mu biseera bya Yeswa.
8
Ate Abaleevi ye Yeswa, ne Binnuyi, ne Kadumyeli, ne Serebiya, ne Yuda, ne Mattaniya eyali awamu ne baganda be, nga ye akulembera ennyimba ez'okwebaza.
9
Ate Bakubukiya, ne Wunno, baganda baabwe, be baayimiriranga mu maaso okuyimba ebiddibwamu.
10
Yoswa yazaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eliyasibu, Eliyasibu n'azaala Yoyaada,
11
Yoyaada n'azaala Yonataani, Yonataani n'azaala Yadduwa.
12
Bano be baali abakulu b'ennyumba za bakabona mu kiseera Yoyakimu we yabeerera Ssaabakabona: eyali akulira ennyumba eya Seraya, Meraya; eya Yeremiya, Hananiya;
13
eya Ezera, Mesullamu; eya Amariya, Yehohanani;
14
eya Malluki, Yonataani; eya Sebaniya, Yosefu;
15
eya Harimu, Aduna; eya Merayooti, Helukayi;
16
eya Yiddo, Zekariya; eya Ginnetoni, Mesullamu;
17
eya Abiya, Zikuri; eya Miniyamini, eya Mowadiya, Pilutaayi;
18
eya Biluga, Sammuwa; eya Semaaya, Yehonataani;
19
eya Yoyaribu, Mattenayi; eya Yedaaya, Wuzzi;
20
eya Sallayi, Kallayi; eya Amoki, Eberi;
21
eya Hilukiya, Hasabiya; eya Yedaaya, Netaneeli.
22
Mu mirembe gya bassaabakabona Eliyasibu ne Yoyaada, ne Yohanaani, ne Yadduwa, Abaleevi ne bawandiikibwa mu kitabo ky'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Ne bakabona nabo ne bawandiikibwa, okutuusa ku mulembe gwa Dariyo nga ye kabaka w'e Perusiya.
23
Abakulu b'ennyumba z'Abaleevi, baawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka, okutuuka mu biseera bya Yohanaani, mutabani wa Eliyasibu.
24
Hasabiya ne Serebiya, ne Yeswa mutabani wa Kadumyeli be baali abakulu b'Abaleevi. Baatunuuliragananga ne baganda baabwe okuyimba ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda, ng'oludda olumu luyimba ebiddibwamu, nga Dawudi, omuntu wa Katonda, bwe yalagira.
25
Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumooni, ne Akkubu, be baali abaggazi abaakuumanga amawanika ag'oku miryango gy'Essinzizo.
26
Abo baaliwo mu kiseera kya Yoyakimu, mutabani wa Yeswa era muzzukulu wa Yehozadaaki, ne mu kiseera kya Nehemiya omufuzi, ne mu kya Ezera kabona era omunnyonnyozi w'Amateeka.
27
Awo ekiseera bwe kyatuuka okutukuza ekisenge kya Yerusaalemu, ne bakuŋŋaanya Abaleevi yonna gye baali, bajje e Yerusaalemu, beetabe mu kijaguzo eky'okutukuza ekisenge, bayimbe ennyimba ez'okwebaza, nga bakuba ebitaasa n'ennanga, n'okufuuwa endere.
28
Abaleevi abayimbi ne bakuŋŋaana, nga bava mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemu, ne mu byalo by'e Netofa,
29
ne Betigilugaali ne mu kitundu ky'e Geba, ne Azumaveti, kubanga abayimbi abo baali beezimbidde mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemu.
30
Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza, ne batukuza abantu, n'emiryango, n'ekisenge kya Yerusaalemu.
31
Awo ne mpita abakulu b'omu Buyudaaya ne balinnya ku ntikko y'ekisenge. Ne mbaawulamu ebibinja bibiri ebyagendanga bikumba okwetooloola ekibuga, nga byebaza Katonda. Ekibinja ekimu ne kitambula nga kidda ku mukono ogwa ddyo okwolekera Omulyango gw'Ebisasiro.
32
Hosaaya n'ava emabega w'abayimbi ng'agobererwa ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze ba Buyudaaya,
33
ne Azariya, ne Ezera, ne Mesullamu,
34
ne Yuda, ne Benyamiini, ne Semaaya, ne Yeremiya,
35
n'abamu ku batabani ba bakabona, abaagendanga bafuuwa amakondeere, era be bano: Zekariya mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Semaaya, Semaaya mutabani wa Mattaniya, Mattaniya mutabani wa Miikaaya, Mikaaya mutabani wa Zakkuri, Zakkuri mutabani wa Asafu,
36
ne baganda be; Semaaya, ne Azareeli, ne Milalayi, ne Gilalayi, ne Maayi, ne Netaneeli, ne Yuda, ne Hanani, abaagendanga bakuba ebivuga bya Dawudi, omuntu wa Katonda, era Ezera omunnyonnyozi w'Amateeka ng'akulembeddemu.
37
Awo ne bayita mu Mulyango gw'Oluzzi, ne bagenda butereevu mu maaso gaabwe, ne balinnya ku lutindo olulaga mu kibuga kya Dawudi, ekisenge we kyambukira waggulu w'olubiri lwa Dawudi, ne batuuka ku kisenge ekiri ku Mulyango gw'Amazzi, mu buvanjuba bw'ekibuga.
38
Ekibinja ekirala eky'abo abajja okwebaza, ne kigenda ku kkono. Nze n'ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze b'abantu, ne tubagoberera, ne tutambulira ku kisenge waggulu, ne tuyita ku Munaala gw'Ettanuulu okutuukira ddala ku Kisenge Ekigazi.
39
Ne tuyita engulu w'Omulyango gwa Efurayimu, ne ku Mulyango Omukadde, tuutwo ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ne ku Munaala gwa Hananeeli, ne ku Munaala ogw'Ekikumi. Ne tuyita ku Mulyango gw'Endiga, ne tutuuka ku Mulyango gw'Abakuumi, awo we twakoma.
40
Awo ebibinja byombi ebyebaza ne biyimirira mu Ssinzizo, era nange bwe ntyo wamu n'ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze be nali nabo,
41
omwali ne bakabona: Eliyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eliyowenayi, ne Zekariya, ne Hananiya, abo nga balina amakondeere,
42
ne Maaseya, ne Semaaya, ne Eleyazaari, ne Wuzzi, ne Yehohanani, ne Malukiya, ne Elamu, ne Ezeri. Abayimbi ne bayimba mu ddoboozi ery'omwanguka nga bakulemberwa Yezirakiya.
43
Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro bingi nga bayimba mu maloboozi ag'omwanguka, kubanga Katonda yali abawadde essanyu. Abakazi n'abaana nabo ne beetaba mu kujaguza, era okusanyuka okwo okwali mu Yerusaalemu ne kuwulirwa n'ewala.
44
Ku lunaku olwo ne balonda abantu ab'okulabiriranga amaterekero agakuumirwamu ebiweebwayo eby'Essinzizo omuli ekimu eky'ekkumi, emmere ey'empeke n'ebibala bye baasookanga okukungula. Era baalina okukuŋŋaanyizaamu emigabo egiragirwa mu Mateeka okuweebwa bakabona n'Abaleevi, okuva mu nnimiro eziriraanye ebibuga. Abantu b'omu Buyudaaya baasanyuka olwa bakabona Abaleevi abaaweereza,
45
kubanga baakola emikolo egy'okwetukuza, n'emikolo emirala, Katonda waabwe gye yabalagira. Era abayimbi n'abaggazi, nabo baakola omulimu gwabwe, nga bagoberera ebiragiro bya Dawudi ne mutabani we Solomooni, bye baateekawo.
46
Era okuva edda mu biro bya Dawudi ne Asafu, waaliwo akulira abayimbi, era nga waliwo n'ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda.
47
Mu biro bya Zerubabbeeli ne mu biro bya Nehemiya, Abayisirayeli bonna baawangayo ebirabo buli lunaku okuyimirizaawo abayimbi n'abaggazi. Era baawangayo n'emigabo gy'Abaleevi, ate Abaleevi ne baawulako emigabo gy'abaana ba Arooni.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13