bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 2
Nehemiah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Awo mu mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'amakumi abiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, ne mpeereza kabaka omwenge ogwali mu maaso ge. Kabaka yali tandabangako nga ndi munakuwavu.
2
Kyeyava ambuuza nti: “Lwaki oli munakuwavu? Toli mulwadde, wabula olina obuyinike mu mutima gwo.”
3
Natya nnyo era ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi kabaka, wangaala! Nnyinza ntya obutanakuwala ng'ekibuga omuli ebiggya bya bajjajjange kizise, nga n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro?”
4
Kabaka n'anziramu nti: “Kati osaba ki?” Awo ne neegayirira Katonda w'Eggulu.
5
Ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi Ssaabasajja, bw'oba ng'osiimye, era ng'okkirizza okumpa kye nsaba, nzikiriza ŋŋende mu Buyudaaya, mu kibuga omuli ebiggya bya bajjajjange, nkizimbe buggya.”
6
Awo kabaka, ng'atudde wamu ne Nnaabagereka, n'ambuuza nti: “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Ne mmulaga ekiseera, n'akkiriza okuntuma.
7
Era ne mmusaba ampe ebbaluwa ez'okutwalira abafuzi b'ekitundu eky'emitala w'omugga, balyoke banzikirize okuyitawo okutuuka mu Buyudaaya.
8
Era ne nsaba n'ebbaluwa ey'okutwalira Asafu, akuuma ekibira kya kabaka, emulagira okumpa emiti egy'okuggyamu embaawo ez'enzigi z'ekisenge ekyetoolodde Essinzizo, n'ez'ekisenge ekyetoolodde ekibuga, era n'ez'ennyumba gye ndisulamu. Kabaka n'ampa bye namusaba, kubanga Katonda wange yali wamu nange.
9
Awo kabaka n'atuma abakulu mu magye n'ekibinja ky'abeebagazi b'embalaasi okugenda nange. Ne ntuuka eri abafuzi abali emitala w'omugga, ne mbawa ebbaluwa za kabaka.
10
Naye Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, bwe baawulira nti waliwo omuntu azze okuyamba Abayisirayeli, ne banyiiga nnyo.
11
Awo ne ntuuka e Yerusaalemu, ne mmalayo ennaku ssatu.
12
Oluvannyuma ne ngolokoka ekiro, nga ndi wamu n'abasajja batonotono, nga sirina gwe mbuulidde kindi ku mutima, Katonda kye yaŋŋamba okukolera Yerusaalemu. Ensolo yokka gye nalina, ye nsolo gye nali neebagadde.
13
Ne nfulumira mu Mulyango ogw'omu Kiwonvu, nga bukyali kiro, ne njolekera Oluzzi olw'Ogusota, n'Omulyango gw'Ebisasiro. Ne neetegereza ebisenge bya Yerusaalemu ebyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo egyayokebwa omuliro.
14
Ne neeyongerayo, ne ntuuka ku Mulyango gw'Oluzzi, ne ku Kidiba kya Kabaka. Naye eyo nga teri kkubo mwe nnyinza kuyisa nsolo gye nali neebagadde.
15
Ne nvaayo nga bukyali kiro, ne mpita mu kiwonvu, nga bwe neetegereza ebisenge, ne nzirayo mu kibuga, nga mpita mu Mulyango gw'Ekiwonvu.
16
Abakulembeze tebaamanya gye nali ndaze, wadde kye nakola. Era nali sirina kye nnaabulidde Bayudaaya bannange, bakabona oba abakungu, oba abakulembeze, wadde abalala bonna abaali ab'okukola omulimu.
17
Awo ne ndyoka mbagamba nti: “Mulaba akabi ke tulimu: Yerusaalemu kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe ebisenge by'ekibuga, tuleme kuddamu kuswala.”
18
Ne mbategeeza nga Katonda bwe yankolera eby'ekisa, era n'ebyo kabaka bye yaŋŋamba. Awo ne baddamu nti: “Tusituke tuzimbe.” Awo ne beetegeka okutandika omulimu ogwo omulungi.
19
Kyokka Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, ne Gesemu Omuwarabu, bwe baawulira kye tutegeka okukola, ne batusekerera. Ne batugaya nga bagamba nti: “Mukola ki ekyo? Mwagala kujeemera kabaka?”
20
Nange ne mbaddamu nti: “Katonda w'Eggulu ajja kutuwa omukisa. N'olwekyo ffe abaweereza be, tujja kusituka tuzimbe. Naye mmwe, temulina mugabo na bwannannyini, wadde ekijjukizo mu Yerusaalemu.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
Recommended Reading
Commentary
Nehemiah Commentaries
→
Devotional
Nehemiah Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→