bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 9
Nehemiah 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwo, Abayisirayeli ne bakuŋŋaana, ne basiiba era ne bambala ebikutiya, nga basaabye n'ettaka ku mitwe gyabwe, okulaga nga bwe banyoleddwa olw'ebibi byabwe.
2
Baali beeyawudde ku b'amawanga amalala, ne bayimirira okwatula ebibi byabwe n'ebya bajjajjaabwe.
3
Nga bayimiridde mu bifo byabwe ne basoma mu kitabo ky'Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu. Ate essaawa essatu ezaddirira, ne bazimala nga baatula ebibi byabwe, era nga basinza Mukama Katonda waabwe.
4
Awo Yeswa, ne Baani, ne Kadumyeli, ne Sebamiya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani, ne Kenani ne bayimirira ku madaala g'Abaleevi, ne bawanjagira Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery'omwanguka.
5
Awo Abaleevi: Yeswa, ne Kadumyeli, ne Baani, ne Asabuneya, ne Serebiya, ne Hodiya, ne Sebaniya, ne Petahiya ne bagamba abantu nti: “Musituke mutendereze Mukama Katonda wammwe, nga mugamba nti: Okuva ddi na ddi erinnya lyo eryekitiibwa erisukkulumye amatendo gonna, ligulumizibwe emirembe gyonna.
6
Ayi Mukama, ggwe Mukama wekka. Ggwe watonda eggulu n'ebiri wa ggulu mu bbanga. Ggwe watonda olukalu n'ennyanja n'ebibirimu byonna, era ggwe obikuuma byonna. Eby'omu ggulu ggwe bisinza.
7
Ggwe Mukama Katonda eyalonda Aburaamu, mu Wuuri eky'Abakaludaaya, n'omutuuma Aburahamu.
8
Walaba omutima gwe, nga mwesigwa gy'oli n'okola naye endagaano. N'omusuubiza okumuwa ensi y'Abakanaani ey'Abahiiti n'Abaamori, ensi y'Abaperezi ey'Abayebusi n'Abagirugaasi ebe ya bazzukulu be. Era n'okituukiriza, kuba oli mutuukirivu.
9
“Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, n'owulira okukaaba kwabwe ku nnyanja emmyufu.
10
Wakola ebyewuunyo n'ebyamagero ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be bonna ne ku bantu b'omu nsi ye, kubanga wamanya bwe baabonyaabonya bajjajjaffe. Ne weefunira ettutumu erikutenza ne leero.
11
Ennyanja wagitemamu wabiri nga balaba n'agaabwe, ne batambulira awakalu okugiyitamu wakati. Abo abaabawondera n'obakasuka ebuziba, ng'ejjinja erikasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
12
Wabakulembezanga empagi ey'ekire emisana, ekiro n'obakulembezanga empagi ey'omuliro obamulisize ekkubo lye baba bayitamu.
13
Wava mu ggulu n'okka ku lusozi Sinaayi n'oyogera nabo, n'obawa ensala entuufu, Amateeka ag'amazima, ebibuuliriro ebirungi era n'ebiragiro.
14
Wabamanyisa olunaku lwo olwa Sabbaato olutukuvu, n'obawa ebiragiro byo era n'Amateeka go ng'oyita mu Musa omuweereza wo.
15
“Bwe baalumwa enjala, wabawa emmere eyava mu ggulu. Bwe baalumwa ennyonta, n'obawa amazzi agaava mu lwazi. N'obalagira bagende beefuge ensi, gye wabasuubiza okubawa.
16
Wabula bo, bajjajjaffe, beekulumbaza ne bawaganyala, ne bagaana okuwulira ebiragiro byo.
17
Baagaana okukuwulira, era beerabira ebyamagero bye wakola mu bo. Olw'okwekulumbaza kwabwe, bajeema, ne beerondera omukulembeze okubazzaayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe oli Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa. Oli wa kisa, era ojjudde okusaasira. Olwawo okusunguwala, era okwatirwa nnyo ekisa, era tewabalekulira.
18
Wadde beekolera ekifaananyi eky'ennyana ekisaanuuse, ne bagamba nti ye Katonda waabwe, eyabaggya e Misiri, nga bakoze ebivvoola ennyo,
19
naye olw'okusaasira kwo okungi, tewabalekulira nga bali mu ddungu. Tewabaggyaako mpagi ya kire, ebaluŋŋamya emisana, wadde empagi ey'omuliro ebamulisiza ekkubo ekiro, ekkubo lye baba bayitamu.
20
Wabawa omwoyo gwo omulungi okubaluŋŋamya. Tewabaggyaako mannu yo gye baalya, wabawa n'amazzi banywe.
21
Wabalabirira mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, nga tebaliiko kye bajula. Tebaayambala ngoye njulifu, wadde okuzimba ebigere.
22
“Wabawa ensi za bakabaka n'amawanga okuba omugabo gwabwe, ne beefuga ensi ya Sihoni, kabaka we Hesubooni, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani.
23
Wayaza abaana baabwe ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'obatuusa mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagyefuge.
24
Bazzukulu baabwe ne bayingira ne beefuga ensi eyo. Wabawangulira abatuuze baamu Abakanaani. Bo ne bakabaka baabwe n'obassa mu mikono gy'abantu bo babakole nga bwe baagala.
25
Abantu bo baawamba ebibuga ebiriko ebigo, n'ensi engimu, n'ennyumba ezijjudde ebyobugagga, n'enzizi ezisimiddwa, n'ennimiro ez'emizabbibu n'ez'emiti emizayiti, n'ez'emiti mingi nnyo egy'ebibala. Ne balya ne bakkuta, ne basanyukira ebirungi ebingi bye wabawa.
26
“Kyokka ne bagaana okukuwulira ne bakujeemera, ne bava ku Mateeka go. Ne batta abalanzi abaabawabulanga okubakyusa badde gy'oli. Baakolanga ebivvoola ennyo,
27
kyewava obawaayo mu balabe baabwe ne bababonyaabonya. Mu kubonaabona kwabwe baakukaabirira, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu. Olw'okusaasira kwo okungi n'obaweereza abanunuzi abaabawonya abalabe baabwe.
28
Naye bwe baafuna emirembe, ne baddamu okwonoona. Era n'obawaayo mu balabe baabwe ne babafuga. Bwe beenenyanga ne bakukaabirira obawonye, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu, n'obanunula emirundi mingi olw'ekisa kyo.
29
Wabalabula obakomyewo ku Mateeka go. Naye olw'okwekulumbaza kwabwe, ne batawulira biragiro byo, wabula ne babimenya bumenyi, sso nga mu kubituukiriza, omuntu mw'afunira obulamu. Ne bakubayo amabega, ne bakakanyalira ddala, ne bagaana okuwulira.
30
Wamala emyaka mingi ng'obagumiikiriza, n'obalabulanga ne Mwoyo wo, ayogerera mu balanzi; kyokka ne baziba amatu, kyewava obawaayo mu b'amawanga amalala.
31
Naye olw'ekisa kyo ekingi, tewabazikiriza wadde okubaabulira, kubanga oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi.
32
“Kale nno ayi Katonda waffe ggwe omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, okuuma endagaano, era olina okwagala okutakoma. Okubonaabona kwonna okwatujjira ffe ne bakabaka baffe, n'abakungu baffe, ne bakabona baffe, n'abalanzi baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bo bonna okuviira ddala ku mirembe gya bakabaka ba Assiriya n'okutuusa kati, kuleme kukulabikira ng'akantu akatono.
33
Mu byonna ebyatutuukako, wabeeranga mwenkanya, kubanga wakolanga eby'amazima. Naye ffe twali boonoonyi.
34
Bakabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga Mateeka go era tebaawuliranga biragiro byo, wadde okuwabula kwo kwe wabawabulangamu.
35
Baagaana okukyuka, okuva mu bibi byabwe bakuweereze newaakubadde wabawa omukisa, mu bwakabaka bwabwe, ne babeera mu nsi engazi era engimu, ne mu birungi byonna bye wabawa.
36
Kaakano tuli baddu, baddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okubeeramu, n'okulyanga ebibala byamu, n'ebirungi ebirala ebirimu.
37
Ensi eyo ewa amagoba mangi bakabaka be wateekawo okutufuga kubanga twayonoona. Balina obuyinza okukola buli kye baagala ku ffe ne ku magana gaffe. Tulina obuyinike bungi!”
38
“Olw'ebyo byonna, kyetuva tukola endagaano mu buwandiike, abakungu baffe, n'Abaleevi baffe, ne bakabona baffe, ne bagissaako emikono.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13