bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Nehemiah 7
Nehemiah 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka ekisenge bwe kyaggwa okuzimba, era nga mmaze okuteekamu enzigi, era ng'abaggazi, n'abayimbi, era n'Abaleevi balondeddwa,
2
ne nteekawo muganda wange Hanani, ne Hananiya omufuzi w'ekigo eky'okwerinda okulabiriranga Yerusaalemu. Hananiya oyo yali mwesigwa, era nga mu kutya Katonda tewali amwenkana.
3
Ne mbagamba nti: “Emiryango gya Yerusaalemu tegiggulwangawo ng'akasana tekannabaaluuka, era bagiggalenga, gisibwe ng'abakuumi bakyakuuma. Era muteekeewo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemu, bakuume mu mpalo zaabwe, era buli mukuumi akuume ekitundu ennyumba ye mw'etunudde.”
4
Yerusaalemu kyali kibuga kinene, naye mwalimu abantu batono era nga n'ennyumba ezizimbiddwa si nnyingi.
5
Katonda n'anteekamu ekirowoozo eky'okukuŋŋaanya abakungu, n'abakulembeze b'abantu, n'abantu abalala babalibwe mu maka mwe bazaalibwa. Ne nzuula ekitabo eky'obuzaale bw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati:
6
Bano be bantu abaava mu kitundu ky'e Babilooni abaakomawo e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya buli muntu ng'adda mu kibuga ky'ewaabwe. Abantu bano Kabaka Nebukadunezzari yali abatutte e Babilooni nga basibe.
7
Abakulu baabwe baali Zerubabbeeli, Yeswa, Nehemiya, Azariya, Raamiya, Nahamani, Moruddekaayi, Bilisani, Misupereti, Biguvaayi, Nehumu ne Baana. Guno gwe muwendo gw'abasajja Abayisirayeli:
8
Ab'ezzadde lya Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri.
9
Ab'ezzadde lya Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
10
Ab'ezzadde lya Ara, lukaaga mu ataano mu babiri.
11
Ab'ezzadde lya Pahati Mowaabu, bazzukulu ba Yeswa ne Yowaabu, enkumi bbiri, mu lunaana mu kkumi na munaana.
12
Ab'ezzadde lya Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana.
13
Ab'ezzadde lya Zattu, lunaana mu ana mu bataano.
14
Ab'ezzadde lya Zakkayi, lusanvu mu nkaaga.
15
Ab'ezzadde lya Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana.
16
Ab'ezzadde lya Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana.
17
Ab'ezzadde lya Azugaadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri.
18
Ab'ezzadde lya Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu.
19
Ab'ezzadde lya Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu.
20
Ab'ezzadde lya Adini, lukaaga mu ataano mu bataano.
21
Ab'ezzadde lya Ateri era gwe bayita Heezeekiya, kyenda mu munaana.
22
Ab'ezzadde lya Hasumu, bisatu mu abiri mu munaana.
23
Ab'ezzadde lya Bezayi, bisatu mu abiri mu bana.
24
Ab'ezzadde lya Halifu, kikumi mu kkumi na babiri.
25
Ab'ezzadde lya Gibiyoni, kyenda mu bataano.
26
Abasajja abasibuka mu Betilehemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana.
27
Abasajja abasibuka mu Anatooti, kikumi mu abiri mu munaana.
28
Abasajja abasibuka mu Beti-Azumaveti, amakumi ana mu babiri.
29
Abasajja abasibuka mu Kiriyati-Yeyariimu, Kefira ne Beroti, lusanvu mu ana mu basatu.
30
Abasajja abasibuka mu Raama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu.
31
Abasajja abasibuka mu Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri.
32
Abasajja abasibuka mu Beteli ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu.
33
Abasajja abasibuka mu Nebo ekirala, amakumi ataano mu babiri.
34
Ab'ezzadde lya Elamu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana.
35
Ab'ezzadde lya Arimu, ebikumi bisatu mu amakumi abiri.
36
Ab'ezzadde lya Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano.
37
Ab'ezzadde lya Loodi, ne Hadidi ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu.
38
Ab'ezzadde lya Ssena, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
39
Bakabona: ab'ezzadde lya Yedaaya, bazzukulu ba Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu.
40
Ab'ezzadde lya Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri.
41
Ab'ezzadde lya Pasuhuuri, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu.
42
Ab'ezzadde lya Harimu, lukumi mu kkumi na musanvu.
43
Ab'ennyumba z'Abaleevi abaava mu buwaŋŋanguse be bano: Ab'ezzadde lya Yeswa ne Kadumyeli abasibuka mu Hodeva, nsanvu mu bana.
44
Abayimbi ab'ezzadde lya Asafu, kikumi mu ana mu munaana.
45
Abaggazi ab'ezzadde lya Sallumu, n'erya Ateri, n'erya Talumooni, n'erya Akkubu, n'erya Atita, n'erya Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana.
46
Abaweereza b'omu Ssinzizo ab'ezzadde lya Ziha, n'erya Asufa, n'erya Tabbawooti;
47
ab'ezzadde lya Kerosi, n'erya Siya, n'erya Padoni;
48
ab'ezzadde lya Lebana n'erya Hagaba, n'erya Salumayi;
49
ab'ezzadde lya Hanani, n'erya Giddeli, n'erya Gahari;
50
ab'ezzadde lya Reyaaya, n'erya Rezini, n'erya Nekoda
51
ab'ezzadde lya Gazzamu, n'erya Wuzza, n'erya Paseya;
52
ab'ezzadde lya Besayi, n'erya Mewuniimu, n'erya Nefusesimu;
53
ab'ezzadde lya Bakubuki, n'erya Akufa, n'erya Arukuri;
54
ab'ezzadde lya Bazuliti, n'erya Mekida, n'erya Arusa;
55
ab'ezzadde lya Barukosi, n'erya Sisera, n'erya Tema;
56
ab'ezzadde lya Neziya n'erya Atiifa.
57
Ab'ezzadde ly'abaweereza ba Solomooni: ab'ezzadde lya Sotayi, n'erya Sofereti, n'erya Perida;
58
ab'ezzadde lya Yaala, n'erya Darukoni, n'erya Giddeli;
59
ab'ezzadde lya Sefatiya, n'erya Attili, n'erya Pokereti Azebayimu, n'erya Amoni.
60
Ab'ezzadde ly'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'ery'abaweereza ba Solomooni bonna awamu, baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
61
Bano be baava mu bibuga Telumela, Teluharusa, Kerubu, Addoni ne Yimmeri, kyokka nga tebayinza kulaga nnyumba za bajjajjaabwe mwe basibuka, wadde obuzaale bwabwe nti Bayisirayeli:
62
ab'ezzadde lya Delaaya, n'erya Tobiya, n'erya Nekoda, bonna awamu lukaaga mu ana mu babiri.
63
Ne mu bakabona, waaliwo ab'ezzadde lya Hobaya, n'erya Hakkozi, n'erya Baruzillayi, eyawasa omu ku bawala ba Baluzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
64
Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale naye ne watalabika, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu.
65
Omufuzi n'abagaana okulya ku mmere entukuvu ennyo, okutuusa nga bafunye kabona asobola okukozesa Wurimu ne Tummimu.
66
Bonna awamu abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
67
nga tobaliddeeko baddu baabwe na bazaana baabwe abaali akasanvu mu ebisatu mu asatu mu musanvu. Era baalina abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano abasajja n'abakazi.
68
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu zaabwe zaali ebikumi bibiri mu ana mu ttaano.
69
Eŋŋamiya zaabwe zaali ebikumi bina mu asatu mu ttaano, endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri.
70
Awo abamu ku bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika ensimbi kilo munaana eza zaabu, n'ebbenseni amakumi ataano, n'ebyambalo ebikumi bitaano mu asatu, ebya bakabona.
71
Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne bawaayo mu ggwanika ensimbi kilo kikumi mu nkaaga mu munaana eza zaabu, ne kilo lukumi mu bibiri mu ataano eza ffeeza.
72
Abantu abalala ne bawaayo ensimbi, kilo kikumi mu nkaaga mu munaana eza zaabu, ne kilo kikumi mu ana ffeeza, n'ebyambalo nkaaga mu musanvu ebya bakabona.
73
Bwe batyo bakabona n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu abaabulijjo, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'Abayisirayeli bonna, ne babeeranga mu bibuga byabwe. Omwezi ogw'omusanvu okutuuka, Abayisirayeli nga bali mu bibuga byabwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13