bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 1
2 Corinthians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Pawulo Omutume wa Kristu Yezu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timotewo owooluganda. Ya Ekleziya wa Katonda ali mu Korinti, wamu n'abatuukirivu bonna ab'omu Akayiya yonna.
2
Eneema ebeere nammwe, n'emirembe gya Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.
3
Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu, Taata nnannyini kisa, Katonda nnyini kukubagizibwa kwonna, atenderezebwe.
4
Oyo mu nnaku zaffe zonna atukubagiza, naffe ne tusobola okukubagiza abo bonna abali mu nnaku nga tweyamba okukubagizibwa ffe ffennyini kwe tukubagiziddwamu Katonda.
5
Ng'okubonaabona kwa Kristu bwe tukugabanyeeko okuyitirira, era mu Kristu bwe tugabanye ku kukubagizibwa n'okusingawo.
6
Bwe tuba mu nnaku, tubeeramu lwa kukubagizibwa na kulokoka kwammwe; bwe tukubagizibwa, ekigendererwa nti nammwe mufune okukubagizibwa, nammwe bwe mugumira ennaku nga ffe ze tulaba.
7
Essuubi lye tulina ku lwammwe linywevu; anti tumanyi nga bwe mubonaabona. Nga bwe mugabana ku nnaku zaffe, mugabanye ne kukubagizibwa kwaffe.
8
Abooluganda, tetwandyagadde mmwe butamanya ku nnaku ze twalaba mu Aziya; twazitoowererwa ekiyitiridde nga tetukyayinza na kuzigumira, n'obulamu ne tubuterebukamu.
9
Mazima twawulira ng'abasaliddwa ogw'okufa, bwe tutyo tuleme kwesiga maanyi gaffe, naye twesige ye yekka azuukiza abafu.
10
Yatuwonya mu kabenje akenkanidde awo obubi, na kati akyatuwonya, era tusuubirira mu ye nti ajja kwongera okutuwonya.
11
Nammwe nno mutujune nga mutusabira, bwe tutyo bangi batwebalizeeko olw'eneema etuweereddwa olw'essaala z'abangi.
12
Ekitwewaanya kye kino, era n'emmeeme yaffe etujulira mu kino, nti tweyisa mu nsi, ate ne mu maaso gammwe, mu butuukirivu ne mu bwerufu obuva mu Katonda, si mu magezi ga nsi, wabula mu neema ya Katonda.
13
Anti tetubawandiikira kirala wabula ekyo kye musobola okusoma n'okutegeera.
14
Nsuubira nga mujja kutegeera byonna, era nga bwe mwategeddeko edda ebimu, nti muyinza okutwenyumirizaamu, nga naffe bwe tuyinza okubenyumirizaamu ku lunaku lw'Omukama Yezu.
15
Olw'obwesige obwo, nayagala nsookere ewammwe eyo, omukisa mufune gwa mirundi ebiri.
16
Nayagala mpitire eyo nga ŋŋenda mu Masedoniya; nga nvudde mu Masedoniya, nkomewo ewammwe ogwokubiri, nammwe mulyoke mumperekere nga ŋŋenda mu Buyudaaya.
17
Nali nkyabusabuusa kino we nakiteeseza? Bye nteesa mbiteesa ng'omuntu obuntu, ne ŋŋamba “Yee” ate nga nze omu agamba “Nedda”?
18
Katonda ow'amazima, ebigambo bye tubagamba tebibeeranga Yee oba Nedda.
19
Anti Omwana wa Katonda Yezu Kristu gwe twabayigiriza, Siluvano, Timotewo nange, teyali Yee oba Nedda. Mu ye bulijjo mulimu Yee.
20
Katonda bye yasuubiza byonna mu ye mwe bisanga Yee; kyetuva twanukula nti: “Amiina,” nga tuyita mu ye, Katonda alyoke afune ekitiibwa.
21
Katonda oyo y'anyweza ffe nammwe mu Kristu, n'atusiiga omuzigo,
22
n'atussaako akabonero ke, n'atuwa ng'omusingo, ye Mwoyo ali mu mitima gyaffe.
23
Mbalabidde Katonda ng'omujulirwa wange, ndayidde obulamu bwange: sajja Korinti lwa kwagala kubasaasira.
24
Tetuli bakama abafuga okukkiriza kwammwe, wabula ffe tuli bayambi bammwe, mulyoke musange essanyu, anti mmwe muli banywevu mu kukkiriza.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13