bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 10
2 Corinthians 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Nze, Pawulo, nzennyini mbeegayiridde mu buteefu n'eggonjebwa ebya Kristu, nze omwetoowaze bw'emba nga tugasimbaganye, naye bwe mba ewala abagambisa amaanyi,
2
mbeegayiridde nti nga ndi nammwe mumponye okukozesa amaanyi n'okwemanya bye njagala okukozesa eri abo abatuteebereza okuba nga tweyisa mu ngeri ya nsi.
3
Weewaawo tukyali mu nsi, naye olutalo tetulwana lwa mu nsi,
4
kubanga eby'okulwanyisa bye tukozesa mu lutabaalo lwaffe si bya mu nsi, wabula ebyo ebirina amaanyi ga Katonda okuzikiriza ebigo;
5
tumenya okuwakanawakana na buli ekigulumira okuziyiza okumanya Katonda; buli kirowoozo kyonna tukiwamba ne tukigondeza Kristu,
6
nga twetegese okubonereza obutawulira bwonna amangu ddala nga mumaze okufuuka abawulize.
7
Mutunuulire ekyo ekibali mu maaso: oyo eyeekakasa nti wa Kristu, addemu yejjukize nti wa Kristu, ate nti naffe bwe tuli.
8
Ne bwe naddamu okwetenda ne mpitirizaamu olw'obuyinza Omukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza, ekyo tekijja kunkwasa nsonyi.
9
Sandyagadde kubeera ng'abakanga n'amabaluwa.
10
Anti mbiwulira nti: “Sso ebbaluwa ze nzito, za maanyi; naye bw'aba awo, munafu n'ebigambo bye obigaya.”
11
Oyo ayogera atyo ategeere nti bye twogera mu bbaluwa nga tetuli eyo, bye tukola nga tuli eyo.
12
Ffe tetuguma kwesimba ku abo wadde okwegeranya n'abo abeetenda. Naye bwe beefuula omu olugero lwa munne, ne beegeranya bokka na bokka, baba tebategeera.
13
Ffe tetujja kwetenda kusukkiriza, wabula tujja kwekuumira mu lugero Katonda lwe yatuwa, nti tusobodde mmwe okubatuuka.
14
Tetusukka we twapimirwa ng'abataabatuukako; ate nno ffe twasookera ddala okubatuukako, nga tujja n'Evangili ya Kristu.
15
Awo nno tetwetendera mu by'abalala bye baakola kisukkiridde. Naye okukkiriza kwammwe bwe kunaaba kunnywedde, omulimu gwaffe mu mmwe tusuubira okugugaziyiza ddala okusinziira ku bipimo byaffe,
16
tuyigirize Evangili tusukke n'ewammwe, nga tetutaddeeko kwetenda olw'omulimu ogwakolebwa edda awalala.
17
Eyeetenda, yeetendere mu Mukama.
18
Kubanga eyeetenda yekka si y'asiimwa, wabula oyo Katonda gw'atenda.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13