bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 8
2 Corinthians 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Abooluganda, ka tubabuulire eneema ya Katonda eyaweebwa Ekleziya z'e Masedoniya.
2
Ebizibu bye baalimu mu kulumwa, essanyu lyabwe eggitirivu, ssaako obwavu bwabwe obungi, byazaalukukamu obugagga obw'omutima gwabwe omugabi.
3
Nga bwe nnyinza okubajulira, baawa okusinziira ku kye basobola, ate ne basussa ne ku busobozi bwabwe, ate nga beeyagalidde.
4
Baatwegayirira nnyo nga batwesengereza tubawe omukisa nabo badduukirireko ku batuukirivu.
5
Okusinga ne bwe twali tulindiridde, bo bennyini baasokera ku kwewa Katonda, ate oluvannyuma naffe ne batwewa ku lw'okwagala kwa Katonda.
6
Kyetwava tusaba Tito nti nga bwe yali atandiseeko, omulimu guno ogw'ekisa agumalirize mu mmwe.
7
Nga bwe musinga mu buli kintu: mu kukkiriza, mu kwogera, mu kumanya, mu kujjumbira okwa buli ngeri, ne mu kutwagala, mulabe nga ne mu kino nno eky'okugaba mmwe musinga.
8
Kino nkyogera naye si ng'abalagira obulagizi, wabula njagala nga mulabye okujjumbira okw'abalala, nammwe okwagala kwammwe kubeere kwa nnamaddala.
9
Anti mumanyi omutima omugabi ogwa Mukama waffe Yezu Kristu, nti ye yali mugagga, naye yeefuula omwavu olw'okubeera mmwe, olw'obwavu bwe mulyoke mufuuke abagagga.
10
Mbawa n'amagezi ku kino, nti mujja kuganyulwa singa omulimu gwe mwatandika omwaka guli, temugukola bukozi kyokka, wabula ate nga mugattako n'omutima ogwagala.
11
Kale nno mumalirize okugukola, olwo ebbugumu ly'okwagala kwammwe lituukane n'ekyammwe eky'okugumaliriza nga musinziira ku kye mulina.
12
Okwagala bwe kubaawo, kusiimibwa okusinziira ku oli ky'alina, naye si ku oli ky'atalina.
13
Si kwe kugamba nti abalala bateewuluzibweko, ate mmwe muboneebone, wabula nti wabeerewo okwenkanankana.
14
Kati ebibafikkiridde bidduukirire abatalina, nabo ebiriba bibafikkiridde olumu biribayamba; olwo okwenkanankana lwe kubaawo.
15
Nga bwe baawandiika nti: “Eyakuŋŋaanya ennyingi teyamuyitirira, n'eyakuŋŋaanya entono teyajula.”
16
Katonda yeebale eyawa mu mutima gwa Tito okubajjumbira.
17
Bwe twamusaba, yakkiriza; ate naye olw'okubeera omujjumbize, ajja gye muli ku lulwe.
18
Tusindikiddeko n'owooluganda omulala atendebwa mu Ekleziya zonna olw'engeri gy'alangiriramu Evangili.
19
Si ekyo kyokka, naye era yalondebwa Ekleziya atambulenga naffe ku mulimu guno ogw'ekisa gwe tuliko olw'ekitiibwa ky'Omukama n'okulaga omutima gwaffe ogwagala.
20
Twayagala okwewala abantu okutwemulugunyaamu olw'engeri gye tukuttemu okusonda okunene kuti okwakolebwa.
21
Kubanga tugeza okukola obulungi, si mu maaso ga Katonda kyokka, naye ne mu g'abantu.
22
Ne ku bano tusindikiddeko owooluganda omulala, obujjumbize bwe bwe tugezezza emirundi n'emirundi ne tusanga nga bwa mazima mu ngeri nnyingi; leero kati omujjumbize n'okusingawo olw'obwesige obungi bw'abalinamu.
23
Tito ye munnange bwe tukola, annyambako erudda eyo mu mmwe; bo baganda baffe, be babaka Ekleziya be zisindise, kye kitiibwa kya Kristu.
24
Kale nno, mu maaso g'Ekleziya mubooleke okwagala kwammwe n'obukakafu bw'okwenyumiriza kwe tubeenyumirizaamu.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13