bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 12
2 Corinthians 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Nina okwetenda; kino temuli mugaso, naye era ka ntuuke ku Mukama bye yandaga ne bye yambikkulira.
2
Mmanyi omuntu omu mu Kristu, emyaka kkumi n'ena emabega, eyasitulibwa n'atwalibwa mu ggulu eryokusatu. Oba yali mu mubiri oba si mu mubiri, simanyi; Katonda y'amanyi.
3
Mmanyi ng'omuntu oyo, yasitulibwa n'atwalibwa mu kifo ky'okwesiima, oba yali mu mubiri, oba si mu mubiri, simanyi; Katonda y'amanyi,
4
n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, omuntu by'atakkirizibwa kwogera.
5
Neetenda ku lw'omuntu ono, naye nze ku lwange sijja kwetenda okuggyako mpozzi obuteeyinza bwange.
6
Bwe njagala okwetenda, sandibadde musiru, kubanga naaba njogera mazima. Naye sijja kukikola, wabulewo andowoozaako ebisinga ku ebyo by'andabamu oba by'ampulirako.
7
Okunziyiza okwewanika olw'ebiyitirivu ebyambikkulirwa, naweebwa eriggwa mu mubiri gwange, malayika wa Sitaani ankube, nneme kwewanika.
8
Nawanjagira Omukama emirundi esatu kinveeko;
9
yanziramu kimu nti: “Eneema yange ekumala; amaanyi gange geeragira mu bunafu.” Awo nno nzija kweetendera mu bunafu bwange n'okusingawo ate nga ndi musanyufu, amaanyi ga Kristu galyoke gambeereko.
10
Ku lwa Kristu kyenva nsanyukira mu bunafu bwange, mu bivumo, mu bizibu, mu biyigganyizo ne mu bubenje, kubanga bwe mba omunafu lw'emba ow'amaanyi.
11
Nasiriwadde! Mmwe mubinjagazizza, anti mmwe mwandibadde ab'okutenda. Anti ddala siri mutene mu maaso g'abo abatume abakulu, newandibadde nga siri kantu.
12
Obubonero obulaga omutume yennyini bwakolebwa mu mmwe mu bugumiikiriza bwonna mu bubonero, ebyewuunyo n'ebikolwa eby'amaanyi.
13
Kale mmwe muli bubi ki okusinga ekleziya endala? Mpozzi kimu kyokka, nze obutabaako kye mbakaluubirizaamu. Ensobi eno muginsonyiwe.
14
Anti nzuuno neetegese okujja ewammwe omulundi ogwokusatu; era sijja kubaako kye mbakaluubirizaamu, kubanga ebyammwe si bye nnoonya, wabula mmwe. Anti abaana si be baterekera ababazaala, wabula abazadde be baterekera abaana.
15
Naye nze nzennyini nzija kwewaayo nga ndi musanyufu, era nzija kuweebwayo olw'okubeera emyoyo gyammwe. Bwe mbaagala bwe ntyo, ate olwo mmwe ne mukendeeza mu ku njagala?
16
Weewaawo saabakaluubiriza nzennyini, naye nali mukalabakalaba, ne mbafunira mu bukujjukujju.
17
Waliwo omu ku abo be nabatumira gwe nayitamu okubalyakula?
18
Neegayirira Tito ajje, ne mutumirako n'owooluganda. Tito ye yabalyakula? Ffembi tetwali ba mutima gumu? Ekisinde tetwakwata kimu?
19
Kati nno obwedda mulowooza nti twewozaako gye muli? Tubadde twogera mu maaso ga Katonda mu Kristu, nga mu byonna, abaagalwa, tugenderera kubazimba.
20
Naye ntya nti oboolyawo nnyinza okujja ne sibasanga nga bwe nandyagadde, nange ne mutansanga nga bwe mwandyagadde; oboolyawo ne wabaawo mpaka, buggya, busungu, kwefaako, kuwaayiriza, ŋŋambo, lunkulu, kutabangula.
21
Era ntya nti oboolyawo bwe najja eyo Katonda yandintoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abangi abayonoona edda naye nga tebanneenenya eby'obuseegu, obwenzi n'obugwenyufu bye baakola.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13