bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 2
2 Corinthians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Muli nateesa obutajja wammwe gwa kubiri kubanakuwaza.
2
Kubanga bwe mbanakuwaza, ate anansanyusa olwo anaaba ani, wabula mmwe be mba nnakuwaza?
3
Nawandiika nga bwe nakola, nga nzize nneme kunakuwazibwa ate abantu abandibadde bansanyusa. Mbeesiga mwenna, essanyu lyange ly'essanyu lyammwe mwenna.
4
Nawandiika nga ndi munakuwavu nnyo, ng'omutima gunnennyise, mu maziga amayitirivu. Saagenderera kubanakuwaza, naye nayagala mutegeere nga bwe mbaagala okuyitirira.
5
Oba waliwo eyannakuwaza, teyanakuwaza nze, naye – bwe mba siyitirizza mu bigambo – mwenna yabanakuwaza ekiwera.
6
Ow'engeri eyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kyali kimala bumazi.
7
Kati ate musigalidde kumulaga busaasizi na kumugumya aleme kuggwaawo olw'ennaku okumuyitirirako.
8
Mbeegayiridde mumukakasize ddala nga bwe mumwagala.
9
Kyennava mbawandiikira nkakase era mmanye oba muli bawulize mu byonna.
10
Oba waliwo gwe musonyiwa, nange mmusonyiye. Nange nga mbaddeko kye nsonyiwa, oba waliwo eky'okusonyiwa, nkisonyiwa ku lwammwe mu maaso ga Kristu,
11
tuleme kulimbibwalimbibwa Sitaani; anti by'agenderera tetugamba nti tetubimanyi.
12
Bwe najja e Turowa okuyigiriza Evangili ya Kristu, oluggi lwanzigulirwawo mu Mukama.
13
Naye omutima tegwantereera kubanga muganda wange Tito saamusangayo. Kwe kubasiibula ne ndaga mu Masedoniya.
14
Katonda yeebale, oyo mu Kristu atukulemberamu bulijjo mu lukumba olw'obuwanguzi, ate ayita mu ffe n'agenda ng'abunya wonna akawoowo ak'okumanyibwa kwe.
15
Kubanga ffe kaloosa ka Kristu akaweerezebwa Katonda mu abo abalokoka ne mu abo abazikirira.
16
Ku bamu kaba kuwunya kwa kufa okutwala mu kufa; ate ku balala kawoowo ka bulamu akatwala mu bulamu. Ani asaanira omulimu ogwenkana awo?
17
Ffe obutaba ng'abangi bwe bakola, ekigambo kya Katonda tetugenda nga tukibunza tutyo ng'eky'okutunda, wabula ng'abantu abeesimbu, ng'abantu Katonda b'atumye, tukyogera mu Kristu mu maaso ga Katonda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13