bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 4
2 Corinthians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Katonda yamala okutukwasa omulimu guno olw'ekisa kye, tetuterebuka.
2
Twemansulira ddala empisa eziswaza ez'enkiso; tetuliimu bukujjukujju oba okulimbisa Ekigambo kya Katonda; tweyogerako kyere mu mazima eri buli muntu mu maaso ga Katonda.
3
Oba Evangili yaffe ekyabikkiddwa, ab'okuzikirira b'ebeerera embikke;
4
beebo abatakkiriza, lubaale w'ensi eno baazibye amaaso n'abagaana okulaba ekitangaala ky'Evangili y'ekitiibwa kya Kristu, abeera ekifaananyi kya Katonda.
5
Ffe gwe tulangirira si ye ffe ffennyini, wabula Kristu Yezu nti ye Mukama; ate ffe nti tuli baweereza bammwe ku bwa Yezu.
6
Kubanga Katonda eyalagira nti: “Ekitangaala kyake okuva mu kizikiza,” y'oyo eyaleeta ekitangaala mu mitima gyaffe, mwakiremu ekitangaala eky'okumanya ekitiibwa kya Katonda, ekitangalijjira mu maaso ga Yezu.
7
Ekkula lino tulitwalira mu bibya bya bbumba, kyerage lwatu nti amaanyi amasukkirivu ga Katonda, si gaffe.
8
Tunyigirizibwa ku njuyi zonna, naye tetugonda; tusobezebwa, naye tetuterebuka;
9
tuyigganyizibwa, naye tetwabulirwa; tukubwa wansi naye tetuttibwa.
10
Bulijjo okufa okwa Yezu tuyita nakwo mu mubiri gwaffe, obulamu bwa Yezu busobole okulabikira mu mubiri gwaffe.
11
Nga tukyali balamu, bulijjo tugenda tuweebwayo mu kufa olw'okubeera Yezu, obulamu bwa Yezu busobole okulabika mu mubiri gwaffe ogw'okufa.
12
Mu ffe nno kufa kwe kukola, naye mu mmwe bulamu.
13
Ng'omwoyo ogw'okukkiriza gwe tulina gwe gumu n'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, kyetuva twogera,
14
nga tumanyi nti eyazuukiza Omukama Yezu naffe alituzuukiza wamu ne Yezu, n'atutwala wamu nammwe gy'ali.
15
Byonna ebyo lwa kubeera mmwe, ennema gy'ekomya okusaasaana n'etuuka ku bangi, gy'eba eyongera n'okwaza okwebaza ku lw'ekitiibwa kya Katonda.
16
Kyetuva tutaterebuka; kuno kungulu ne bwe tukenena, muli munda tuzzibwa buggya buli lunaku.
17
Zino ennaku entono ez'akadde kano zitutegekera ettu eritaggwaawo ery'ekitiibwa ekitageraageranyizika,
18
kubanga tetufa ku bino ebirabika, wabula ku biri ebitalabika; anti bino ebirabika biyita buyisi, naye biri ebitalabika tebiggwaawo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13