bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 9
2 Corinthians 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Seetaaga kubawandiikira ku by'okuyamba abatuukirivu,
2
kubanga mmanyi bwe mukyagala; era ku kino mbadde mbatenda mu bantu b'omu Masedoniya, nga mbagamba nti Akayiya yo neetegefu n'okuva mu mwaka guli. Entakabana gye mutakabanyeemu ekakamudde bangi ddala.
3
Naye ntumye abooluganda okwenyumiriza kwaffe kwe tubeenyumirizaamu kuleme kubeera kwa busa mu kintu kino. Nammwe mubeere beetegefu nga bwe nagamba,
4
sikulwa ng'ab'omu Masedoniya bajja nange ne basanga nga temwetegese; mmwe nga siboogeddeeko, ekyo ffe kyandikubye ensonyi okuba nga twabeesiga.
5
Kyennava nteesa okusaba abooluganda banneesookeyo gye muli; okusonda kwe mwetema bakutegekerewo; kubeere nga kutegeke ng'ekirabo ekiweeseddwa okwagala, sso si ekikake.
6
Kino kikulu: asiga ekitono, alikungula kitono; asiga mu bungi, alikungula mu bungi.
7
Buli muntu awe nga bwe yateesa mu mutima gwe; tawa ng'aganiriza, oba na kukakibwa, kubanga Katonda ayagala agaba nga musanyufu.
8
Katonda ayinza okubawa buli mukisa gwonna mu buyitirivu, mulyoke bulijjo mubeere na byonna ebibamala, era musobole okuwa mu buyitirvu eby'okukola emirimo emirala gyonna emirungi.
9
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yamansa n'agabira abaavu; obutuukirivu bwe busigalawo emirembe gyonna.”
10
Oyo alabira omusizi ensigo n'omugati ogw'okulya agenda kubawa ensigo yammwe, n'ebibala byammwe eby'obutuukirivu abiwe okwala.
11
Mujja kugaggawazibwa mu buli kintu musobole okugaba; ebyo binaayitanga ku ffe ne bifuuka okwebaza Katonda.
12
Kubanga okukola omulimu guno tekugasa kufunira batuukirivu bibabulako kyokka, naye era kwongera abantu okwebaza Omukama.
13
Okulaba kye mukoze ekyo, bajja kutendereza Katonda nga balabye bwe mukkiriza ne mwatula Evangili ya Kristu, n'engeri gye mulumiddwa omutima ne mubayamba, bo n'abalala bonna.
14
N'essaala zaabwe ku lwammwe ziryoleka nga bwe babaagala olw'eneema empitirivu Katonda gy'abawadde.
15
Katonda yeebale olw'ekirabo kye kino ekitanyumizika.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13