bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 11
2 Corinthians 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Singa nno mumaze gangumiikirizaako olw'obusiru bwange obutonotono; sso nno era muŋŋumiikiriza.
2
Mbabubira n'okububira kwa Katonda, anti naboogereza ewa Kristu, njagala mbanjule ng'omuwala embeerera, omutukuvu, ew'omusajja omu.
3
Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Eva n'obukujjukujju bwagwo, n'ebirowoozo byammwe byandiwugulwa ne muva ku kwemaliza Kristu mu mazima ne mu butukuvu.
4
Kubanga bwe wabaawo azze n'abayigiriza Kristu omulala gwe tutaabayigiriza, oba ne mufuna Mwoyo omulala ku gwe mwafuna, oba Evangili endala eteri eno gye mwayaniriza, olwo muba bangu okubikkiriza.
5
Ndowooza nti nange siri mutene ku batume bali abakulu ddala.
6
Ne bwe siba mukugu mu kuteregga mu lulimi, mu bye mmanyi siri mutene; kino twakibooleka bulungi mu buli ngeri mu byonna.
7
Nze bwe neetoowaza mmwe mulyoke musukkulume olwo ne nkola obubi, okuba ng'Evangili nagiyigiriza awatali ke musasudde?
8
Ekleziya endala nazinyaga bwe nakkiriza kye bansasulanga, mmwe ndyoke mbaweereze.
9
Bwe nali eyo ewammwe nga ndi mu bwetaavu, mpaawo gwe nakaluubiriza, kubanga bye nali mbulwako abooluganda abaava e Masedoniya be baabiwanga. Mu byonna saayagala kubakaluubiriza, era siribakaluubiriza.
10
Ng'amazima ga Kristu gali mu nze, okwetenda kuno kwe neetendamu tekugenda kusirisibwa mu Akayiya yonna.
11
Lwaki? Kubanga sibaagala? Katonda amanyi nti mbaagala.
12
Nzija kwongera okukola kye mbadde nkola, ndyoke ntwale omukisa gw'abo abanoonya omukisa gw'okuyisibwa nga ffe mu mulimu gw'okuyigiriza gwe beetendamu.
13
Abo batume ba bulimba, bakozi abateesigibwa, abeefaananya ng'Abatume ba Kristu.
14
Ggwe wamma mpaawo kwewuunya, ndaba ne Sitaani yennyini yeefaananya nga malayika w'ekitangaala.
15
Tekyewuunyisa bwe baba nga n'abaweereza be beefaananya n'abaweereza b'obutuukirivu. Enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.
16
Nziramu okugamba: tewabangawo andowooza kubeera musiru; oba bwe mulowooza, kale mumpise ng'omusiru, mumpe bwe mutyo omukisa ogw'okwetendamu akatono.
17
Bye ŋŋenda okwogera, sibyogera ku bwa Mukama, wabula ng'omusiru, nga nkakasa nti nnina kye nnyinza okwetendamu.
18
Ndaba bangi beetenda mu by'ensi, nange ka neetende.
19
Anti abasiru mubagumiikiriza n'essanyu, engeri gye muli abagezi.
20
Anti mujja kugumiikiriza bwe wabaawo abafuga obuddu, abeeyambisa obweyambisa, oba abalyakula, abeewanikako oba abakuba empi.
21
Kino kisonyiwaza okukyogera, naye twali banafu. Naye ekyo oli kye yeetendamu, – kati njogera ng'omusiru, - nze nange nkyetendamu.
22
Bo Beebureeyi? Nange bwe ndi. Bo Bayisirayeli? Nange bwe ndi. Bo bazzukulu ba Yiburayimu? Nange bwe ndi.
23
Bo baweereza ba Kristu? Ka njogere ng'agudde eddalu, nze mbasinga: mbasinga mu bungi bw'emirimo, mu kusibibwa mu makomera, mu kukubibwa emiggo emiyitirivu; mirundi mingi katono nfe.
24
Nakubwa Abayudaaya emirundi etaano ku buli mulundi nga balekayo embooko emu okuweza amakumi ana.
25
Nakubibwa emiggo emirundi esatu; lumu bankuba amayinja; emirundi esatu ng'amaato ge nalimu gasaanawo; ekiro kimu n'olunaku lumu nga ndi ku nnyanja nteeyenga;
26
eŋŋendo butabala; mbadde mu kabi ku migga, akabi mu batemu, akabi mu bantu b'eggwanga lyange, akabi mu b'amawanga; akabi mu kibuga; akabi mu ddungu; akabi ku nnyanja; akabi mu booluganda ab'obulimba;
27
mbadde mu kukola ne mu kutegana; mpise mu biro bingi nga nsula ntunula; nnumiddwa enjala n'ennyonta, nsiibye ne nsula emirundi mingi, nfuuyiddwa empewo, mpise obwereere.
28
Ebirala ng'obitadde ebbali, kwe kweraliikirira okwa buli lukedde kwe neeraliikiriramu Ekleziya zonna.
29
Ani aggwaamu amaanyi nze ne siggwaamu maanyi? Ani aleeterwa okugwa nze ne sinyiiga?
30
Oba ndi wa kwetenda, nzija kwetendera mu ebyo ebiraga obunafu bwange.
31
Katonda era Kitaawe w'Omukama Yezu, atenderezebwe emirembe gyonna, oyo amanyi sirimba.
32
E Damasiko, owessaza wa kabaka Areta yakuuma ekibuga ky'e Damasiko ankwate,
33
naye naserengesebwa mu kisero nga mpisibwa mu ddirisa ly'oku bbugwe, ne mmusumattuka.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13