bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 5
2 Corinthians 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Kubanga tumanyi nga weema yaffe ey'oku nsi gye tulimu bw'erimala okwabizibwa, tulinayo ekisulo ewa Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eteriggwaawo.
2
Kuno tusinda, nga tuyaayaana twambazibwe ekisulo kyaffe eky'olubeerera eky'omu ggulu,
3
nga tukyambadde, tuleme kusangibwa nga tuli bwereere.
4
Nga tukyali mu weema eno, tusinda olw'okuzitoowererwa; si lwa kugamba nti tujja kwambulwa, wabula nti twambazibwe n'okusingawo, kino ekifa kimiribwe obulamu.
5
Katonda eyatuwa Mwoyo abeere omusingo, ekyo ye yakitutegekera.
6
Awo nno bulijjo tuli bagumu; tumanyi nti nga tukyali waka mu mubiri, Omukama tumwesuubye,
7
kubanga tutambulira mu kukkiriza si mu kye tulabyeko.
8
Tuli bagumu, naye ng'ekyandisinze, twabulire omubiri guno, tubeere eka n'Omukama.
9
Ne bwe tuba awaka, ne bwe tuba ewala, tuluubirira kumusanyusa.
10
Ffenna tuteekwa okulabika mu maaso g'entebe ya Kristu ey'obulamuzi, buli omu afune empeera ye olw'ebirungi oba ebibi bye yakola mu mubiri.
11
Kubanga tumanyi okutya Omukama, tusendasenda abantu. Katonda amanyi kye tuli, ndowooza nammwe mukimanyi mu mmeeme yammwe.
12
Tetwagala kuddamu kweyogerako gye muli, tubawa buwi kawenda ka kutwenyumirizaamu, musobole okuddamu abo abeetendera mu by'okungulu sso si mu biva mu mutima.
13
Oba tugudde eddalu, lwa kubeera Katonda; oba tuli bantubalamu, lwa kubeera mmwe.
14
Anti okwagala kwa Kristu kutuwujja, kubanga tukakasa nti oba omu yafa okubeera bonna awo nno abantu bonna baafa.
15
Kyeyava afa okubeera bonna, abantu abalamu baleme kubeera balamu ku lwabwe, wabula ku lw'oyo olw'okubeera bo eyafa n'azuukizibwa.
16
Naffe nno n'okuva kati, kyetuva tutabaako gwe tutunuulira mu bwa muntu buntu, newandibadde ng'olumu Kristu twamutunuulirako ng'omuntu obuntu, naye tetwaddamu kumutunuulira tutyo.
17
Awo nno buli yenna ali mu Kristu, afuuse kitonde kiggya; ekitonde ekikadde kiweddewo, kati ekiggya kizze.
18
Bino byonna biva mu Katonda, eyatabagana naffe mu Kristu, eyatuwa omulimu gw'okututabaganya.
19
Kwe kugamba nti Katonda, mu Kristu yali ensi atabagana nayo, ebibi byayo nga takyagibibalira; naffe n'atukwasa obubaka obw'okutabaganya.
20
Tuli babaka ba Kristu nno; Katonda bw'aba abakubiriza, ayita mu ffe. Tubeegayirira ku lwa Kristu, mutabagane ne Katonda.
21
Olw'okubeera ffe, Katonda yaddira ataaliko kibi n'amufuula ekibi, oyo ataamanya kibi, olwo ffe mu ye tusobole okufuuka obutuukirivu bwa Katonda.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13