bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 6
2 Corinthians 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Ng'abakozi ba Katonda abamuyambako, tubakubiriza eneema ya Katonda muleme kugifunira busa.
2
Anti agamba nti: “Nakuwulira mu budde obw'omukisa, nakuyamba ku lunaku olw'obulokofu.” Kale nno buno bwe budde obw'omukisa, zino ze nnaku ez'obulokofu.
3
Tetuteera n'omu ati kyesittazo mu kkubo lye, omulimu gwaffe guleme kusangibwako kiguvunaanisa.
4
Naye mu byonna tweraga nga bwe tuli ddala abaweereza ba Katonda: mu bugumiikiriza obw'ekitalo, mu nnaku, mu bwetaavu, mu kweraliikirira,
5
mu kukubibwa, mu makomera, mu butabanguko, mu mirimo, mu kusula nga ntunula, mu kusiiba,
6
mu butukuvu, mu magezi, mu bukwatampola, mu kisa, mu Mwoyo Mutuukirivu, mu kwagalana okutaliimu bukuusa,
7
mu kwogera amazima ne mu maanyi ga Katonda, ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu nga bituli mu ddyo ne mu kkono;
8
mu kitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu kwogerwako obubi ne mu kwogerwako obulungi. Batuyita bakalimbira, sso nga tuli ba mazima;
9
ne tuba nga be batamanyi, sso nga tumanyiddwa, ne tuba ng'abaafa, sso tuutuno tukyaliwo; ne tuba ng'ababonereze, sso tetuttibwa;
10
ne tuba ng'abanaku, sso bulijjo tusanyuka; ne tuba ng'abaavu, sso tugaggawaza bangi; ne tuba ng'abatalina kantu, sso tulina byonna.
11
Twogera kyere gye muli, mmwe ab'e Korinti, n'omutima gwaffe tugubagguliddewo.
12
Ffe tetubafunzizza, mmwe mufunzizza emitima gyammwe.
13
Mbagamba ng'abaana bange, nti nammwe muggule emitima gyammwe.
14
Muleke kukola bitajja nga mwambala ekikoligo kimu n'abatakkiriza. Obutuukirivu bwasiba ddi ekinywi n'obubi? Ekitangaala kyassa ddi ekimu n'enzikiza?
15
Kristu yakkaanya ddi ne Beliyali? Akkiriza afaananya ki atakkiriza?
16
Ekiggwa kya Katonda kikkaanya kitya ne balubaale! Kubanga ffe tuli kiggwa kya Katonda omulamu; ne Katonda bw'agamba nti: “Ndibasulamu, ne ntambulanga mu bo, ndibeera Katonda waabwe nabo balibeera bantu bange;
17
kale nno abantu abo mubaveemu, mweyawuleko, Omukama y'agamba; temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo ndibaaniriza.
18
Nzija kubeera Kitammwe, nammwe mubeere batabani bange, bawala bange, Omukama Omuyinza wa buli kantu bw'agamba.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13