bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 13
2 Corinthians 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Guno gwe mulundi ogwokusatu nga nzija gye muli. Buli kigambo kyonna kikakasibwa n'obujulizi bwa bajulizi babiri oba basatu.
2
Abo, luli abaali boonoonye era n'abalala bonna, mbagamba kye kimu kati nga siri eyo, nga bwe nali mbagambye ku lukyala lwange olwokubiri, nti bwe naaba nzize nate, sijja kubasaasira.
3
Mbu munoonya obukakafu oba Kristu anjogereramu; oyo si munafu ng'abakolako, wabula wa buyinza mu mmwe.
4
Mu bunafu baamukomerera, naye kati mulamu olw'amaanyi ga Katonda; naffe weewaawo tuli banafu mu ye, naye naffe tuliba balamu gye muli wamu naye olw'amaanyi ga Katonda.
5
Mwekebere mulabe oba muli mu kukkiriza. Mwegeze mwennyini. Temulaba nga Yezu Kristu ali mu mmwe? Okuggyako mpozzi ng'ekigezo kibalemye!
6
Nsuubira nga mujja kuzuula nga ffe ekigezo tekyatulema.
7
Omukama tumuwanjagira muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti ekigezo twakisinga, wabula nti mukola ekituufu newandibadde nga tulabika ng'abaalemwa.
8
Tetusobola kulwanyisa mazima, wabula okukolerera amazima.
9
Kubanga tusanyuka bwe tuba abanafu naye nga mmwe muli ba maanyi. Ekyo kye tusaba ne mu ssaala zaffe nti mweyongere mu bulungi.
10
Mpandiise bino nga nkyali eno wala nammwe, nga nzize nneme kubeera mukambwe nga neeyambisa obuyinza Omukama bwe yampa okuzimba sso si okuzimbulula.
11
Eky'enkomerero, abooluganda, mubeere basanyufu; mmwezze buggya, mugumyaŋŋane; mubeere ba ndowooza emu; mutuule mirembe, olwo ne Katonda w'okwagala n'eddembe alibeera nammwe.
12
Mulamusagane n'okunywegeragana okutukuvu. Abatuukirivu bonna babatumidde.
13
Eneema y'Omukama Yezu Kristu n'okwagala kwa Katonda n'okussa ekimu okwa Mwoyo Mutuukirivu bibeere nammwe mwenna.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13