bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 7
2 Corinthians 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Abaagalwa, nga bwe tulina ebyatusuubizibwa bino, twetukuzeeko byonna ebyonoona omubiri n'omwoyo, tulafuubanire obutuukirivu obujjuvu mu kutya Omukama.
2
Mubeere beerufu gye tuli; tetusobyanga muntu, tetukoleranga muntu bubi, tetulyakulanga muntu.
3
Bino sibyogera lwa kubavunaana, anti nagambye dda nti mutuli ku mwoyo; tuli ffenna mu bulamu ne mu kufa.
4
Mbeesiga nnyo, mbeenyumirizaamu nnyo; essanyu limpitirira mu nnaku zange ne nkubagizibwa.
5
Bwe twajja e Masedoniya, tetwafuna kuweerako, ne tulaba ennaku buli wantu: ebweru nga ndasano, munda nga kutya.
6
Naye Katonda akubagiza abanaku, yatukubagiza naffe n'okujja kwa Tito.
7
Si na kujja kwe kyokka, naye n'olw'okukubagizibwa kwe yakubagizibwamu ewammwe, nga bwe yatunyumiza engeri gye mwegomba okundabako, nga bwe munnumirwa omutima, ggwe wamma ne nsanyuka bya kitalo.
8
Nandibadde mu bbaluwa yange nabanakuwaza, sejjusa, newandibadde nga mu kusooka nejjusa; ndaba ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, yadde akabanga kaali katono.
9
Naye kati ndi musanyufu, si kubanga nabanakuwaza, naye olw'okubeera nti okunakuwala kwammwe kwavaamu okwenenya. Mwanakuwala nga Katonda bw'ayagala, ne tutabaako kye twabafiiriza.
10
Anti okunakuwala nga Katonda bw'ayagala kireeta okwekomako okutuusa ku bulokofu, era tekuleetera oli kwejjusa; naye okunakuwala ng'ensi bw'ekutegeera kuleeta lumbe.
11
Mulabe okunakuwala nga Katonda bw'ayagala bwe kubaleetedde mu bungi okussaako omwoyo, n'okwennyonnyolako, n'okunyiiga, n'okutya, n'okulumirwa omwoyo n'okubonereza. Mu buli kye mukoze mweraze ng'ekigambo temukirinaako musango.
12
Awo nno newandibadde nga nabawandiikira ebbaluwa, teyawandiikibwa lwa kubeera oli eyasobya, oba oli gwe baasobya, wabula nti okutulumirwa kwe mutulumirwamu kuboolekebwe mu maaso ga Katonda.
13
N'olw'ensonga eyo tukubagiziddwa. Ku kukubagizibwa okwo tugasseeko n'okusanyuka olw'essanyu Tito lye yafuna, kubanga mwenna mwamukakkanya omutima.
14
Obanga namulaga bwe mbenyumirizaamu, sikwatiddwa nsonyi; bye twabatendamu ewa Tito byeraze nga bituufu kyenkana nga buli kyonna kye twali tubagambye.
15
Omutima gwe gweyongedde okubaagala ng'ajjukira nga mwenna bwe mwamuwulira, era nga bwe mwamwaniriza mu kutya n'okukankana.
16
Nsanyuse, kubanga mbeesiga mu byonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13