bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Corinthians 3
2 Corinthians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Tuttukizza buto okwetenda? Oba okufaanana ng'abalala naffe twetaaga bbaluwa ey'okutwanjula gye muli oba eva gye muli?
2
Mmwe mwennyini mmwe bbaluwa yaffe; yawandiikibwa mu mitima gyaffe, emanyibwe era esomebwe abantu bonna.
3
Mweragira ddala nti mmwe bbaluwa eva ewa Kristu gye twawandiika; etaawandiikibwa mu bwino, wabula eyawandiikibwa ne Mwoyo wa Katonda omulamu; si ku mpande za mayinja, wabula ku mpande z'emitima gyammwe egy'obuntu.
4
Obwesige bwe tulina mu Katonda bwe butyo bwe buli obw'amaanyi ku bwa Kristu.
5
Si kubanga tulina ke tusobola ku bwaffe, tulyoke tugambe nti waliwo akava gye tuli, wabula obusobozi bwaffe butuviira wa Katonda,
6
eyatusaanyiza okubeera abaweereza n'endagaano empya etali ya nnukuta mpandiike, wabula eya Mwoyo; anti ennukuta empandiike ereeta kufa, sso Mwoyo aleeta bulamu.
7
Oba omulimu oguleeta olumbe, ogwayolebwa ku mayinja mu nnukuta gwalina ekitiibwa ekyenkana awo, nga n'abaana ba Yisirayeli tebasobola kutunuulira Musa mu maaso olw'okutemagana kwago, sso nga kwali kwa kaseera buseera,
8
omulimu ogwa Mwoyo gunaalema gutya okusinzaawo ekitiibwa?
9
Oba omulimu oguleeta omusango gwalina ekitiibwa, omulimu oguleeta obutuukirivu guteekwa okusinzaawo ddala ekitiibwa.
10
Ddala ku nsonga eno, ekyali eky'ekitiibwa luli kyatuuka obutakyaba na kitiibwa olw'ekitiibwa kiri ekiyitirivu okukisinga.
11
Ddala oba ekyaggwaawo kyajjira mu kitiibwa ekitaggwaawo, ekisigalawo kiteekwa nno okuba n'ekitiibwa ekisingawo.
12
Nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, tuli bagumu.
13
Tetuli nga Musa eyeebikkanga ekiremba ku maaso abaana ba Yisirayeli baleme kutunuulira nkomerero ya kitiibwa ekyali kizimeera.
14
Kati nno emitima gyabwe gyaguguba; n'okutuusa ku lunaku luno olwa leero, bwe basoma endagaano enkadde ekiremba kye kimu kisigala tekibikuddwa, anti kisobola kuggyibwawo Kristu yekka.
15
N'okutuusa ku lunaku luno olwa leero Musa buli lw'asomebwa, ekiremba kibisse emitima gyabwe;
16
naye omuntu oludda ew'Omukama nga kiggyibwawo.
17
Omukama oyo ye Mwoyo; ate Mwoyo w'Omukama w'abeera, wabeerawo ddembe.
18
Sso ffenna n'amaaso gaffe agatali mabikkeko twakaayakana n'ekitiibwa ky'Omukama, tugenda tufuulibwa nga twekwanya ekifaananyi kye nga bwe tweyongera ekitiibwa ku kitiibwa. Anti ekyo kiva ku Mukama abeera Mwoyo.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13