bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 1
Hebrews 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi ate mu ngeri ezitali zimu ng'ayita mu balanzi;
2
ddaaki mu nsangi zino ez'oluvannyuma n'ayogera naffe mu Mwana gwe yawa okusikira byonna; mu oyo mwe yatondera ensi.
3
Ye kwe kutangalijja kw'ekitiibwa kya Katonda, ye nfaanana ye yennyini, awanirira obutonde bwonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala abantu okubatukuzaako ebibi, n'atuula ku gwa ddyo gw'Oweekitiibwa ali waggulu,
4
ng'amaze okusukkulumizibwa n'okusinga bamalayika kyenkana ng'erinnya lye yasikira bwe libasukkiridde ekitiibwa.
5
Kale malayika ani Katonda gwe yali agambye nti: “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde”? Oba era nti: “Ndibeera Kitaawe, naye alibeera mwana wange”?
6
Ate era bw'aba ayingiza Omwana we omuggulanda mu nsi, agamba nti: “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinze.”
7
Ku bamalayika agamba nti: “Oyo afuula bamalayika be empewo, n'abaweereza be abafuula ennimi z'omuliro.”
8
Sso ku Mwana, agamba nti: “Nnamulondo yo, ayi Katonda, ya mirembe na mirembe; ddamula w'obwakabaka bwo ddamula wa butuukirivu.
9
Wayagala obutuukirivu n'okyawa obugwenyufu. Katonda nno, Katonda wo, kyavudde akusiiga omuzigo, omuzigo ogw'essanyu okusinga ne banywanyi bo.”
10
Ate nti: “Ayi Mukama, mu kusookera ddala wabangawo ensi, n'eggulu mulimu gwa mikono gyo.
11
Ebyo birizikirira, naye ggwe osigalawo;
12
birikaddiwa ng'olugoye, olibizingako ng'omunagiro, birikyuka ng'ekyambalo, naye ggwe osigala ggwe omu, n'emyaka gyo tegiriiko kkomo.”
13
Naye malayika ani gwe yali agambye nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo”?
14
Gyonna egyo si myoyo egikola ogw'obuweereza egy'atumibwa olw'abo ab'okusikira obulokofu?
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13