bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 13
Hebrews 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Okwagalana ng'ab'oluganda kweyongere mu maaso.
2
Temwerabiranga kwaniriza bagenyi; abamu mu kukola batyo baayaniriza bamalayika nga tebategedde.
3
Abali mu kkomera mubajjukire, kyenkana ng'abali nabo mu kkomera; era n'abo abayisibwa obubi, anti nammwe mukyali mu mubiri.
4
Obufumbo bussibwemu ekitiibwa mu bonna, ekitanda ky'abafumbo kireme kujaajaamizibwa, anti Katonda aliramula abakaba n'abenzi.
5
Mwesammule omululu gwa ssente, mumatire ne kye mulina; anti Katonda yennyini yagamba nti: “Sirikuleka, sirikwabulira.”
6
Naffe nno kyetuva twogeza buvumu nti: “Omukama ye muyambi wange, sijja kutya; omuntu obuntu anankola ki?”
7
Mujjukire abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda; mulabe ebyava mu ngeri gye baayisaamu, nammwe mugoberere okukkiriza kwabwe.
8
Yezu Kristu nga bwe yali jjo, y'omu leero n'emirembe gyonna.
9
Temuwubisibwa njigiriza ezitali zimu engwira. Kubanga kirungi omutima okufuna amaanyi nga gava mu neema, sso si mu mmere; abo abagoberera obulombolombo bw'emmere mpaawo kye baggyeemu.
10
Tulina omwaliiro abaweereza Weema kwe batakkirizibwa kulya.
11
Kubanga ennyama y'ebisolo ereetebwa kabona omukulu mu Kitukuvu ng'ekitambiro olw'ekibi eyokerwa bweru wa lusiisira.
12
Ne Yezu naye yabonaabonera bweru wa wankaaki alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe.
13
Naffe nno tugende gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ebivumo ebimuvumibwa.
14
Kubanga kuno tetulinaako kibuga kya lubeerera, wabula tuluubirira kiri ekijja.
15
Bulijjo tuyite ku ye okuweereza Katonda ekitambiro eky'okumutenda, kye kibala ky'emimwa egyatula erinnya lye.
16
Temwerabiranga kukolera bulungi bantu n'okuyambagana mu byetaago; ebitambiro eby'engeri eyo bisanyusa Katonda.
17
Muwulirenga abakulembeze bammwe, mubagondere, anti bakola ogw'okukuuma emyoyo gyammwe ng'abantu abaliwoza omulimu gwabwe. Mubaleke omulimu bagukoze ssanyu, sso si nga batokooterera, kubanga ekyo mmwe tekyandibagasizza.
18
Mutusabire; twekakasa ng'emmeeme yaffe ntereevu; twagala kweyisa bulungi mu buli kintu.
19
Mbasaba nga mbeesengereza kino mukikole nsobole okubaddizibwa amangu.
20
Katonda ow'emirembe, eyaggyayo Yezu Kristu Mukama waffe mu bafu, omusumba omukulu ow'endiga olw'omusaayi gw'endagaano eteggwaawo,
21
abawe musobole okukola buli kirungi mutuukirize mutyo ky'ayagala; akole mu ffe buli ekimusanyusa mu maaso ge, ng'ayita mu Yezu Kristu; oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22
Abooluganda, mbeegayiridde, ebigambo bino bye mbabuuliridde mumale gabikkiriza, anti mbawandiikidde mu bufunze.
23
Mutegeere ng'owooluganda Timotewo yateebwa; bw'alyanguwa okujja, ndijja naye okubalaba.
24
Mundabire bonna ababakulembera n'abatuukirivu bonna. Bo okuva mu Yitale babatumidde.
25
Eneema ebeere nammwe mwenna.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13