bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 11
Hebrews 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Okukkiriza kwe kunywerera ku ebyo ebisuubirwa, kwe kubeera abakakafu ku ebyo ebitalabika.
2
Okukkiriza kuno kwe kutendesa ab'edda.
3
Olw'okukkiriza kyetuva tutegeera nti ensi yatondebwa ekigambo kya Katonda, mu bitalabika ne mukolwamu ebirabika.
4
Olw'okukkiriza, Abeli, - ono yadde nga yafa dda, era akyayogera, - kyeyava aweereza Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, mu kyo n'asiimibwa nti mutuukirivu; Katonda kino n'akikakasa ng'asiima ebitambiro bye.
5
Olw'okukkiriza, Enoki kyeyava atwalibwa n'atalaba ku lumbe; teyazuulibwa, kubanga Katonda yamutwala. Yali tannaba kutwalibwa, yasooka kukakasibwa nti yali asanyusa Katonda.
6
Bwe wataba kukkiriza, tekiyinzika kusanyusa Katonda. Oli asembera eri Katonda ateekwa okukkiriza nga Katonda w'ali, era ng'aweera empeera abo abamunoonya.
7
Nowa bwe baamulabula ku ebyo ebyali bitannalabikako, olw'okukkiriza kyeyava alabuka n'akola ekyombo okuwonya amaka ge; olw'ekyo ensi yagisalira omusango okugisinga, n'asikira bw'atyo obutuukirivu obufunibwa olw'okukkiriza.
8
Yiburayimu olw'okukkiriza kyeyava agonda bwe yayitibwa okulaga mu nsi gye yali agenda okufuna ng'obusika; yamala gagenda nga tamanyi gy'alaga.
9
Olw'okukkiriza kyeyava abeera mu nsi gye yasuubizibwa, ng'ali ku ggwanga; n'abeera eyo mu weema ne Yizaake ne Yakobo basika banne bwe baali basuubira ekimu.
10
Kubanga yali alindirira ekibuga eky'omusingi omugumu Katonda yennyini kye yabanga n'azimba.
11
Olw'okukkiriza, Saara kyeyava asobola okufuna olubuto, yadde nga yali ayise ku budde, kubanga eyali asuubizza yamutwala nti mwesigwa.
12
Olw'okubeera ekyo, mu muntu omu eyali kyenkana ng'afudde, ne musibukamu abali ng'emmunyeenye z'eggulu mu bungi, ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja ogutabalika.
13
Bano bonna baafiira mu kukkiriza nga tebafunye byali bisuubiziddwa, wabula nga baabirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakkiriza nti ku nsi bagwira, bayise.
14
Aboogera bwe batyo balaga kyere nti banoonya obutaka.
15
Singa baali balumirwa eri ewaabwe gye baali bavudde, ebbanga ery'okuddayo baali balirina.
16
Naye ekituufu kye kino, nti bo baayagala eri mu ggulu esinga obulungi. Ne Katonda kyava taswala kweyita Katonda waabwe, anti yabategekera ekibuga.
17
Yiburayimu luli lwe yagezebwa, olw'okukkiriza kyeyava atambira Yizaake; oyo eyali asuubiziddwa yeevaamu okutambira omwana omu yekka,
18
oyo eyali ayogeddwako nti: “Mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya.”
19
Muli yali akakasa nti Katonda ayinza okuzuukiza omuntu mu bafu. Awo nno ng'otunuulidde amakulu agali mu kino, Yizaake yaddamu n'amufuna.
20
Olw'okukkiriza, Yizaake kyeyava awa omukisa Yakobo ne Ezawu ogw'ebyo ebyali bikyali mu maaso.
21
Olw'okukkiriza, Yakobo ng'afa, kyeyava awa omukisa abaana ba Yozefu kinnoomu, n'asinza, n'akutama ku mutwe gw'omuggo gwe.
22
Olw'okukkiriza, Yozefu ng'afa, kyeyava ayogera ku Kuva kw'abaana ba Yisirayeli mu Misiri n'awa n'ebiragiro ku magumba ge.
23
Olw'okukkiriza, Musa kyeyava akwekebwa bazadde be emyezi esatu ng'amaze okuzaalibwa, nga balaba mubalagavu, ne batatya kiragiro kya kabaka.
24
Musa bwe yakula, olw'okukkiriza kyeyava yeegaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Faraawo,
25
n'asiima okubonyaabonyezebwa wamu n'abantu ba Katonda okusinga okuba mu ssanyu ly'ekibi eriyita obuyisi.
26
Okuvumibwa olw'Omusiige yakuyita obugagga obukira enkuluze ya Misiri yonna, kubanga eriiso yali alitadde ku mpeera.
27
Olw'okukkiriza kyeyava ava mu Misiri ng'obusungu bwa kabaka tabutya; yagumiikiriza ng'ali ng'alaba oyo atalabika.
28
Olw'okukkiriza kyeyava akuza Pasika n'amansira n'omusaayi, eyali azikiriza omuggulanda aleme kubakwatako.
29
Olw'okukkiriza kyebaava basomoka Ennyanja Emmyufu kyenkana ng'olukalu; naye Abamisiri bwe baagezaako, ne basaanawo.
30
Olw'okukkiriza, bbugwe wa Yeriko kyeyava agwa nga bamaze okumwetooloolera ennaku musanvu.
31
Olw'okukkiriza, malaaya Rakabu kyeyava tasaanawo n'abo abaajeema, kubanga yayaniriza bulungi abakessi.
32
Era nkyayongerako ki? N'obudde bumbula okunyumya ku Gidewoni, Baraki, Samusoni, Yefuta, Dawudi, Samweli n'abalanzi.
33
Abo olw'okukkiriza abaawangula obwakabaka, abassaawo obutuukirivu, abaafuna ebisuubizo, abaggala emimwa gy'empologoma,
34
abaazikiza omuliro ogubumbujja, abaasumattuka obwogi bw'ebitala, abaali abanafu ne bafuuka ab'amaanyi, abafuuka abazira mu ntalo; amagye amalumbaganyi abaagaleetera okudduka.
35
Abakazi baddamu ne bafuna abaabafaako nga bazuukira. Abalala bakkiriza okubonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, basobole okuzuukira ogwokubiri mu bulamu obusingawo obulungi.
36
Abalala baagumiikiriza okujolongebwa, ne bakubwa enkoba n'okusibibwa enjegere mu makomera.
37
Baakubibwa amayinja, ne basalwamu ebitundu bibiri, ne battibwa n'ebitala; baabungeeta nga bali mu maliba ag'endiga n'ag'embuzi, ne bawamma, ne balaba ennaku, ne bayisibwa bubi;
38
Abo, sso nga n'ensi baali bagiyitiriddeko obulungi, baabungira mu malungu ne mu nsozi, mu mpuku ne mpampagama z'ensi.
39
Bano newandibadde nga n'okukkiriza kwabwe kubajulira bulungi, tebaafuna kyali kisuubiziddwa,
40
anti Katonda yali atutegekedde ffe okufuna ekisingawo obulungi, anti bo tebaali ba kutuuka ku butuukirivu nga tebali naffe.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13