bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 12
Hebrews 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Tumaze okuba n'ekire ekinene eky'abajulirwa ekitwetoolodde wonna, awo nno naffe tusuule eri buli kiziyizo, naddala ekibi ekitwezinzeeko, ate tudduke n'obugumiikiriza embiro ezituteereddwawo,
2
amaaso nga tugasimbye ku Yezu omutandisi w'okukkiriza kwaffe era akutuusa ku kumalirizibwa mu bujjuvu; oyo olw'essanyu eryali limuteereddwawo, yagumira omusaalaba, n'anyooma okuswala, atudde ku gwa ddyo gwa nnamulondo ya Katonda.
3
Mulowooze ku oyo eyagumira obukyayi aboonoonyi bwe baamulaga, nammwe muleme kuggwamu maanyi mu mutima gwammwe na kuterebuka.
4
Mu lutalo lwammwe n'ekibi temunnafunvubira kutuuka ku kuyiwa musaayi.
5
Mwerabidde ebigambo ebyo ebigumya bye babagamba ng'abaana nti: “Mwana wange, togayanga ŋŋunjula ya Mukama; toggwangamu maanyi bw'akukomangako.
6
Kuba Omukama gw'ayagala amugunjula, aswanyuula buli mwana we gw'afuna”?
7
Olw'okubeera okugunjulwa mugume. Katonda abayisa ng'abaana; mwana ki kitaawe gw'atagunjula?
8
Oba temugunjulwa mutyo, nga bonna bwe baakolebwa, awo nno muli baana ba mu bwenzi, temuli baana ddala.
9
Ekirala, twalina bakitaffe ab'omu mubiri okutugunjula, era twabassangamu ekitiibwa, alabisa nno Kitaffe ow'emyoyo! Tetuumugondere okusingawo ne tuba balamu?
10
Bakitaffe mu mubiri batugunjulira ebbanga ttono nga bakikola ku lwa bulungi bwabwe, naye ye atugunjula lwa kutugasa, tusobole okugabana ku butuukirivu bwe.
11
Weewaawo, okugunjula kwonna bwe kubeera kukolebwa, mulimu ng'okulumwa, si ssanyu; naye oluvannyuma abo ababa bayise mu kubangulwa kuno, kubaleetera ebibala eby'eddembe n'eby'obutuukirivu.
12
Kale nno emikono egiragaye n'entegetege ezifambye mubizzeemu amaanyi.
13
Mugolole amakubo g'ebigere byammwe; ekitundu ekirema kireme kusowokera ddala, wabula kiwone buwonyi.
14
Muluubirirenga okuba mu ddembe n'abantu bonna, era n'obutuukirivu, anti we butali, mpaawo aliraba Katonda.
15
Mwekkaanye wabulewo afiirwa eneema ya Katonda; wabulewo omulandira gw'obukaawu ogututunuka ne guleeta akabi, bangi ne boonooneka olw'okubeera gwo.
16
Wabulewo omuseegu oba omwonoonefu nga Ezawu, eyatunda obukulu bw'obuggulanda bwe olw'olulya olumu luti.
17
Nammwe mumanyi ng'oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, yagaanibwa, kubanga teyasanga mukisa gwa kweddamu, ne bwe yagunoonya mu maziga.
18
Anti temuzze eri lusozi olukwatikako, eri omuliro ogubumbujja, eri ekizikiza ne kazigizigi, eri kikuŋŋunta,
19
eri okunyaanyaagira kw'eŋŋombe n'eddoboozi ly'ekigambo eryaleeteranga abaaliwuliriza okuwanjaga likome okwo okwogera.
20
Kubanga bali tebaasobola kugumira ekyo kye baalagirwa nti: “Ne bwe kinaaba kisolo ne kikwata ku lusozi, kya kukubibwa mayinja.”
21
Ggwe wamma ekyalabika kyali kitiisa, ne Musa n'agamba nti: “Ntidde, nkankana.”
22
Naye mmwe muzze eri olusozi Siyoni, eri ekibuga kya Katonda omulamu, Yeruzaalemu eky'omu ggulu, eri bamalayika enkumi n'enkumi, ku lukuŋŋaana olw'embaga enkulu,
23
ku lukuŋŋaana lw'abaggulanda bonna abaawandiikibwa edda mu ggulu, eri Katonda omulamuzi wa byonna, eri emyoyo gy'abatuukirivu abawedde okutuukirizibwa,
24
eri Yezu omutabaganya ow'endagaano empya, n'eri omusaayi ogwamansibwa ogwogera obulungi n'okusinga ogwa Abeli.
25
Mwekkaanye, temumugaana oyo ayogera. Oba kale bali tebaawona bwe baagaana okuwulira oli eyali alabula ku nsi, ffe tunaawonera wa bwe tunaagaana oyo alabula ng'ayima mu ggulu?
26
Luli eddoboozi lye lyayuuguumya ensi; naye kati asuubizza nti: “Era n'omulundi omulala sijja kuyuuguumya nsi yokka, naye n'eggulu.”
27
Ebigambo 'era n'omulundi omulala' bitegeeza ng'ebintu ebiyuuguumizibwa bijja kuggyibwawo, anti nga bino bintu buntu bitonde, walyoke wasigalewo biri byokka ebitayuuguumizibwa.
28
Kale nno nga bwe tufuna obwakabaka obutayuuguumizibwa, twebaze, ate mu kwebaza tuweereze Katonda mu ngeri emusanyusa, n'ekitiibwa ko n'okumutya,
29
Kubanga Katonda waffe muliro ogusenkenya.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13