bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 9
Hebrews 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Endagaano eyasooka yalina emikolo gyayo egy'okusinza n'Ekitukuvu kyayo ku nsi.
2
Weema yali essiddwawo; mu kitundu kyayo eky'omu maaso nga we wali ekikondo ky'ettawaaza, emmeeza, n'Emigaati egy'Okwolesebwa. Ekitundu ekyo nga kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu.
3
Eri emabega w'olutimbe olwokubiri we waali Weema eyayitibwanga Awatukuvu Ennyo.
4
Waaliyo Omwaliiro ogwa zaabu ogw'obubaani n'Essanduuku ey'Endaagaano, yonna nga mbikke zaabu ku njuyi zonna. Omwo mwalimu ekibya kya zaabu omwali manu n'omuggo gwa Aroni ogwayanya, ate n'empande z'Endagaano.
5
Kungulu ku Ssanduuku nga kuliko bakerubi ab'ekitiibwa, nga babikkiridde Entebe y'Obusaasizi. Bino tetujja kubyogerako mu bujjuvu.
6
Ebyo nga bimaze okutereezebwa bityo, bakabona bayingira bulijjo mu Weema esooka okukola emirimu gyabwe egy'okuweereza.
7
Naye mu Weema eyookubiri, kabona omukulu yekka y'ayingiramu, ate omulundi gumu mu mwaka, ate nga talemye kutwalirako musaayi gw'aweereza ku lulwe ne ku lw'abantu be olw'ebyo bye batanwamu.
8
Mu kino Mwoyo Mutuukirivu atutegeeza nti ekkubo eriyingiza mu Kitukuvu terinnaggulibwa kasita Weema eyasooka eba ng'ekyaliwo.
9
Kino kabonero eri obudde buno, nti okusinziira ku nkola eno, ebitone n'ebitambiro ebiweerezebwamu tebisobola kutukuza mitima gy'abaweereza.
10
Wabula bidda ku mmere, ku byakunywa ne ku by'okunaaba okw'engeri ez'enjawulo, ebyalinga amateeka agadda ku mubiri obubiri okutuusa obudde obw'okutereeza ebintu obuggya.
11
Naye Kristu yatuuka, kabona omukulu ow'ebirungi ebirijja, ng'ayita mu Weema esinga ekitiibwa n'okumalirizibwa obulungi, etaakolebwa na mikono gya muntu, etabalirwa mu bitonde butonde,
12
n'ayingira mu Kitukuvu omulundi gumu n'amala, nga kyatutte si musaayi gwa mbuzi oba ogw'obuyana, wabula omusaayi ogugwe kennyini, n'atufunira okununulibwa okutaggwaawo.
13
Oba ng'omuntu ajaajaamiziddwa okumumansira n'omusaayi gw'ente n'embuzi n'evvu ly'ente ennyana kutukuza ne kulongoosa omubiri,
14
leero alabisa omusaayi gwa Kristu eyeeweereza Katonda ku bwa Mwoyo Ataggwaawo ng'ekitambiro ekitaliiko bbala, gunaalema gutya okutukuza emitima gyaffe okugiggya ku bikolwa ebifu giryoke giweereze Katonda omulamu?
15
Awo nno ye mutabaganya ow'endagaano empya, abantu abaayitibwa basobole okufuna obusika obutaggwaawo obwasuubizibwa, anti waliwo eyafa abanunule mu bisobyo by'omu ndagaano eyasooka.
16
Awali ekiraamo, okufa kw'eyalaama kuteekwa kumala kukakasibwa.
17
Kubanga ekiraamo kitandika okukola luvannyuma lwa kufa, kubanga tekikola ng'eyalaama akyali mulamu.
18
Kwe kulaba nga n'ekyasooka tekyatongozebwa watali musaayi.
19
Anti Musa bwe yamala okusomera abantu bonna buli kyalagirwa mu Tteeka, n'addira omusaayi gw'obuyana n'ogw'embuzi, n'akwata n'amazzi, ebyoya by'endiga ebimyule ne yissopo, n'amansa ku kitabo kyennyini ne ku bantu bonna
20
nga bw'agamba nti: “Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye yabalagira.”
21
Eweema n'ebibya byonna ebyeyambisibwanga mu kuweereza, nabyo n'abimansaako omusaayi.
22
Mu Tteeka nno byonna kyenkana bitukuzibwa na musaayi, era awatali musaayi kuyiika, tewaba kusonyiyibwa.
23
Oba nno ebyo ebifaananyi ebya biri eby'omu ggulu byali biteekwa okutukuzibwa mu ngeri eyo, eby'omu ggulu nno byali biteekwa okutukuzibwa n'ekitambiro ekikira bino obulungi.
24
Anti Yezu teyayingira mu Kitukuvu ekyakolebwa n'emikono, ekifaananyi kya kiri namaddala, wabula yayingira mu ggulu mwennyini alabike mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
25
Tali eyo okwetambira olutata, nga kabona omukulu bw'akola ng'ayingira mu Kitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe kennyini;
26
singa bwe guli, yanditeekeddwa okubonaabona olutata okuviira ddala ensi lwe yabangibwawo. Naye kati yalabika omulundi gumu n'amala, kati ng'omulembe gunaatera okufundikira, alyoke aggyewo ekibi nga yeetambira yennyini.
27
Nga bwe kyateesebwa abantu okufa omulundi ogumu ne waddawo okulamulibwa,
28
ne Kristu bw'atyo, ng'amaze okutambirwa olumu, yeetikka ebibi by'abangi; bw'alirabika ogwokubiri, teriba nsonga ya kibi, wabula okulokola abo abamulindiridde.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13