bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 4
Hebrews 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Kale nno twegendereze, wabulewo n'omu mu mmwe agambibwa nti alemereddwa okukituukako, sso ng'ekisuubizo ekyasuubiza okuyingira mu kiwummulo kikyaliwo.
2
Naffe amawulire amalungi gaatuyigirizibwa kyenkana nga bali; naye ekigambo kye baawulira mpaawo kye kyabagasa, kubanga mu baakiwulira tekyasangamu kukkiriza.
3
Naye ffe abakkiriza tuyingira mu kiwummulo, nga bwe yagamba nti: “Kyennava ndayira mu busungu bwange nti: ‘Tebaliyingira n'akamu mu kiwummulo kyange.’ ” Sso emirimo gye gyonna gyaggwa luli ensi lwe yabangibwawo.
4
Kubanga n'awalala ayogera ku lunaku olwomusanvu nti: “Katonda n'awummula emirimo gye gyonna ku lunaku olwomusanvu.”
5
Era naawo agamba nti: “Tebaliyingira n'akamu mu kiwummulo kyange.”
6
Nga bwe waliwo nno abakyasobola okuyingiramu, kubanga bali be baali bagambye amawulire amalungi baalemwa okuyingira olw'obutawulira,
7
Katonda kwe kussaawo olunaku olulala nti: “Olwa leero,” ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyumako, mu bigambo ebyajuliziddwa edda nti: “Olwa leero, singa muwulira eddoboozi lye, muleke kugugubya mitima gyammwe.”
8
Singa Yoswa yali abatuusizza mu kiwummulo, Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala olw'oluvannyumako.
9
Awo nno okuwummula kwa Sabbaato kukyaliwo ku lw'abantu ba Katonda,
10
anti oli aba ayingidde mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yakola ku gigye.
11
Tusale gonna nno okuyingira mu kiwummulo omwo, wabulewo agwa olw'ekyokulabirako ky'obutawulira ng'obwo.
12
Anti ekigambo kya Katonda kiramu, kikola, kisala n'okusinga ekitala ekirina obwogi ku njuyi zombi; kiyingirira ddala okutuusa okwawula omutima n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, kyekenneenya ebigendererwa n'ebirowoozo by'omutima.
13
Mu maaso ge mpaawo kitonde na kimu kikisiddwa, byonna byanike, biri mu kyangaala mu maaso g'oyo gye tugenda okuwoleza.
14
Tumaze okuba ne kabona omukulu atyo, eyasenserera eggulu, Yezu Omwana wa Katonda, tunyweze enzikiriza yaffe.
15
Kubanga tetulina kabona atatukwatirwa kisa mu bunafu bwaffe, naye tulina oyo eyagezebwa mu byonna nga ffe, kyokka n'atakola kibi.
16
Awo nno tusembere eri nnamulondo y'eneema nga tuli bagumu, tusaasirwe, twefunire eneema ey'okutuyamba nga tubadde mu bwetaavu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13