bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 10
Hebrews 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Etteeka kye lirina bisiikirize busiikirize eby'ebirungi ebirijja, sso si byo ddala; awo nno terisobola n'akatono abo abaweereza kubafuula batuukirivu olw'ebitambiro bye bimu ebiddiŋŋanwa buli mwaka.
2
Singa bwe guli, singa tebyalekera awo dda okuweerezebwa? Anti ng'abaweereza bamaze okutukuzibwa omulundi gumu, tebandizzeeyo kumanya kibi mu mwoyo gwabwe.
3
Sso ekibaawo, mu bitambiro bino mulimu okujjukiza ekibi buli mwaka.
4
Kubanga omusaayi gw'ente ennume n'embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5
Kristu yennyini ng'ajja mu nsi kyeyava agamba nti: “Ebitambiro n'ebitone tewabyagala, sso nze wantegekera omubiri;
6
ebitambiro ebyokye n'ebitambiro olw'ekibi tebyakusanyula.
7
Nze kwe kugamba nti: ‘Nzuuno nzize, ayi Katonda, okukola ggwe ky'oyagala,’ nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw'ekitabo.”
8
Agamba waggulu nti: “Ebyonziira n'ebitone, ebitambiro ebyokye n'ebitambiro olw'ekibi tewabyagala era tebyakusanyula,” – sso bino biweerezebwa ng'Etteeka bwe liragira.
9
Awo n'agattako nti: “Nzuuno nzize okukola ky'oyagala.” Aggyawo ekyasooka alyoke azzeewo ekyokubiri.
10
Olw'okubeera okwagala okwo, twatukuzibwa, omubiri gwa Yezu Kristu bwe gwaweerezebwa omulundi gumu nga gwe gwamala.
11
Buli lunaku buli kabona abeera wo ku mulimu ng'aweereza lutata ebitambiro bye bimu, ebitasobola kuggyawo bibi n'akatono.
12
Sso Kristu yaweereza ekitambiro kimu olw'ebibi ate eky'ennaku zonna, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
13
Okuva olwo alindirira okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa akatebe k'ebigere bye.
14
Mu kweweereza okwo okumu kwokka, abo bonna b'atukuza yabafunira obutuukirivu obw'emirembe gyonna.
15
Ne Mwoyo Mutuukirivu atukakasa, kubanga ng'amaze okugamba nti:
16
“Eno ye ndagaano gye ndikuba n'abo oluvannyuma lw'ennaku ezo, Omukama y'agamba; amateeka gange nzija kugassa ku mitima gyabwe, ngawandiike mu myoyo gyabwe,” agattako nti:
17
“Siriddayo kujjukira bibi byabwe yadde ebisobyo byabwe.”
18
Kale nno awali okusonyiyibwa kwa bino waba tewakyali kitambiro olw'ekibi.
19
Kale nno, abooluganda, tulina obwesige nti tuyinza okuyingira mu Kitukuvu olw'omusaayi gwa Kristu,
20
nga tuyitira mu kkubo eriggya era eddamu lye yatuggulira eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe.
21
Tumaze okuba nno ne kabona omukulu akulira ennyumba ya Katonda,
22
tusembere nno n'emitima egijjudde amazima n'okukkiriza okukakafu, egimaze okumansibwako ne giggyibwamu emmeeme embi, n'emibiri egimaze okunaazibwa n'amazzi amalongoofu.
23
Tunywereze ddala awatali kuddirira essuubi ly'enzikiriza yaffe, anti eyatusuubiza mwesigwa.
24
Buli omu asse omwoyo na ddala ku ky'okukoleezaŋŋanamu okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi.
25
Tuleme kugayaalirira kukuŋŋaana, ng'abamu bwe bamanyidde okukola, wabula tugumyaŋŋane, naddala kati, anti mulaba olunaku lujja lusembera.
26
Tumala tukola ebibi nga tugenderedde sso ate nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyali kitambiro lwa bibi,
27
wabula okulindirira mu kutya okulamulibwa n'omuliro ogw'obusungu ogw'okusenkenya abalabe.
28
Omuntu amenye etteeka lya Musa afa awatali kuddirwamu kasita wabaawo obujulizi bw'ababiri oba abasatu.
29
Mulowooza ekibonerezo kiryenkana wa obubi ekirigwanira oyo alinnyirira Omwana wa Katonda n'omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza n'agunyooma n'avuma ne Mwoyo ow'eneema?
30
Anti tumanyi eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” era nti: “Omukama aliramula abantu be.”
31
Kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.
32
Mujjukire ebiro ebyasooka nga mwakafuna ekitangaala, olutalo olunene olw'ebibonoobono lwe mwavvuunuka.
33
Oluusi nga muvumibwa mu lujjudde n'okubalabya ennaku, olulala nga mubeera wamu n'abo abayisibwa batyo.
34
Anti nammwe mwalumirwa abaali mu nvuba, ne mukkiriza n'essanyu okunyagibwako ebyammwe, kubanga mwali mumanyi nti mmwe mulinayo ebisinga obulungi eby'okusigalawo.
35
Temusuula nno bwesige bwe mulina; empeera yaabwo nnene.
36
Okugumiikiriza mukwetaagira ddala; lwe munaatuukiriza Katonda ky'ayagala ne mufuna kye yasuubiza.
37
“Kubanga wasigadde akabanga katono oli ow'okujja ajje, tajja kulwa.
38
Kyokka omutuukirivu wange aliba mulamu olw'okukkiriza. Naye bw'akuba akaddannyuma, omutima gwange tegumusanyukira.”
39
Naye ffe tetuli mu abo abakuba akaddannyuma ne tuzikirira, naye mu abo abakkiriza ne tusigaza emyoyo gyaffe.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13